TOP

Bagonze: Emmamba ejeemulukuse ku by’okulemera Engabo

By Musasi Wa

Added 19th July 2012

BAZZUKULU ba Gabunga (Abemmamba) bamaze ne bajeemulukuka ne bakomyawo Engabo y’Ebika by’Abaganda. Baagikwasizza Katikkiro Ying. J.B Walusimbi mu Bulange e Mengo eggulo.

Bya Lwanga Kamere ne Vally Mugwanya

BAZZUKULU ba Gabunga (Abemmamba) bamaze ne bajeemulukuka ne bakomyawo Engabo y’Ebika by’Abaganda. Baagikwasizza Katikkiro Ying. J.B Walusimbi mu Bulange e Mengo eggulo. 

Abemmamba baludde nga beeremye okukomyawo Engabo nga bawakanya eky’Emmamba Kakoboza bo gye bayita essiga (eri wansi waabwe) okwetaba mu mipiira gy’Ebika. 

Okusika omuguwa:

Oluvannyuma lw’okugobwa akaakiiko akategeka emipiira gy’Ebika mu mpaka ez’omulundi guno, Abemmamba babisambazze nga bagamba nti tebannafuna bbaluwa ebagoba mu butongole era bo bali mu kwetegekera mpaka ezitandika ku Lwomukaaga balwanire Engabo gye baawangula omwaka oguwedde.

Andrew Benon Kibuuka, omu ku bakungu b’Emmamba, agamba nti, “Tuli mu kwetegeka kuba tewali yaatutegeezezzaako ku kugobwa kwaffe.” 

Akakiiko akategeka empaka zino akaatudde ku Sure House ku Bombo Road ku Lwokubiri kaagobye Emmamba olw’obutakomyawo Ngabo mu budde obwabaweebwa (July 17 ku Lwokubiri).

Bagasseeko n’okugaana Omutaka Gabuga okutuula mu paviriyoni Ssaabasajja bw’anaaba aggulawo empaka zino ku Lwomukaaga.

Katikkiro atangaazizza:

Katikkiro wa Buganda, Ying. J.B Walusimbi ng’Abemmamba bamukwasa Engabo eggulo, yategeezezza nti ensonga z’okubagoba zirina kukwatibwa n’obwegendereza kuba nkulu nnyo eri Obuganda. 

“Tosobola kugoba ttiimu mu mpaka na mumwa. Ensonga z‘Emmamba tuzimanyi era zaatuuka dda ewa Kabaka naye olw’obukulu bwazo, tulina kuzikwata n’obwege-ndereza okwewala ebiyinza okuddirira,” Katikkiro bwe yategeezezza.

Bagonze: Emmamba ejeemulukuse ku by’okulemera Engabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...