TOP

Uganda yeeswanta buwanguzi mu mpaka za Badminton

By Musasi Wa

Added 20th February 2013

UGANDA eyungudde abazannyi 40 okwetaba mu mpaka za Badminton, eza Uganda International ez’omulundi ogwokutaano ezitandika ku Lwokuna mu Lugogo Indoor Stadium.

2013 2largeimg220 feb 2013 174157113 703x422

BYA SILVANO KIBUUKA

UGANDA eyungudde abazannyi 40 okwetaba mu mpaka za Badminton, eza Uganda International ez’omulundi ogwokutaano ezitandika ku Lwokuna mu Lugogo Indoor Stadium.

Empaka zino eziri ku mutindo gw'ensi yonna zeetabiddwaamu amawanga 12 nga gano mulimu ; Uganda, Mauritius eyasoose okutuuka, Egypt , Italy, Sri Lanka ne Germany, so nga amawanga amalala omuli Hungary, India, Nigeria, Scotland ne Kenya gasuubirwa okwegatta ku ganaago agasoose, ku Lwokutaano olwo empaka zifundikire ku Ssande nga 24/02/2013.

Kkampuni ya Sameer Agriculture and Livestock Ltd, ewomye omutwe  mu mpaka zino yawaddeyo ensimbi obukadde butaano (5,000,000/=), mu kibiina kya Uganda Badminton Association okutegeka empaka zino.

Akulira ekibiina kya Uganda Badminton Association (UBA), Simon Mugabi yategeezezza nti  abazannyi bagenda kufuniramu obubonero bw’ensi yonna, era omuwanguzi mu mpaka za ssekinnoomu, mu basajja n’abakazi afune ddoola 600, ate ababiribabiri bafune ddoola 500 buli omu.

Uganda yeeswanta buwanguzi mu mpaka za Badminton

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa