TOP

Micho alabudde abazannyi obutanyooma Zimbabwe

By Musasi Wa

Added 15th January 2014

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevich, asabye abazannyi be beerabire obuwanguzi bwe baatuuseeko ku Burkina Faso n’abalabula nti omupiira omukulu ennyo gwa Zimbabwe era bwe batagugoba biba bibi nnyo eri Uganda.

2014 1largeimg215 jan 2014 084355707 703x422Bya MUSASI WAFFE

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevich, asabye abazannyi be beerabire obuwanguzi bwe baatuuseeko ku Burkina Faso n’abalabula nti omupiira omukulu ennyo gwa Zimbabwe era bwe batagugoba biba bibi nnyo eri Uganda.

 Uganda (Cranes) yakubye Burkina Faso (2-1) n’erinnya ku ntikko y’ekibinja B mu mpaka z’Afrika ez’abazannyira awaka (CHAN). Enkya, Cranes ezzaako Zimbabwe, eyalemaganye (0-0) ne Zimbabwe nga singa Uganda eguwangula, yaakwesogga oluzannya lwa ‘quarter’.

Micho yagambye nti Zimbabwe ya bulabe nnyo kuba egenda kuba n’obuwaguzi bungi olwa bannansi baayo abasuubirwa okujja ku mupiira guno kubanga ba muliraano ne South Afrika ate nga n’abalala bangi bakolera South Afrika.

Wano kwe kulabula abazannyi be okwerabira obuwanguzi bw’oku Burkina Faso kubanga omupiira gwa Zimbabwe gwe gusalawo kinene ku kutuuka ku ‘quarter’.

Yagambye nti okuggyako enduulu, talina kya maanyi ky’atya ku Zimbabwe era ng’alina obwesige mu bazannyi nti bwe banaakwata obukodyo bw’abawadde, bajja kugimegga. 

“South Afrika eri kumpi ne Zimbabwe ate nga bannansi baabwe bangi babeera wano ekitegeeza nti obuwagizi balina bungi. Ttiimu yange ngitegese ekimala okufaafaagana n’embeera eno.” Micho bwe yagumizza Bannayuganda.

Eggulo ku makya, Micho yalagidde abazannyi okutambulako mu kibuga Cape Town basobole okuggya ebirowoozo ku mupiira guno n’okumanyiira obudde. Kuno yayongeddeko okubata ne banyumyamu bokka kibongere okutegeka obwongo bwabwe baggweemu okutya. 

Cranes terina buvune bwonna era kati abazannyi bali bulindaala okuttunka ne Zimbabwe enkya.

NIGERIA ERI MU KUTYA

Leero, South Afrika, abategesi bakomyewo mu nsike okuttunka ne Mali eyakuba Nigeria (2-1). South Afrika yawuttula Mozambique (3-1) mu ggwaggulawo. 

Awangula ku Mali ne South Afrika, waakuyitamu okuzannya ‘quarter’ sso nga Nigeria bw’ekubwa, yaakuwanduka mu mpaka zino ze yeetabyemu omulundi ogusooka.

goba ku bano bombi yeegata ku luzannya lwa ‘quarter’. Omutendesi wa South afrika Gordon Igesund amanyi obukulu bw’omupiira era eno ye nsonga lwaki akubiriza abazannyi okuteekawo omupiira omulungi kibasobozese okuyitawo baleme n’okuswa pulezidenti we ggwanga lino asuubira okubawo.

Abazannyi abali ku ttiimu ya South Afrika enkulu okuli Khune, Tsabalala, Parker be bamu ku bali ne ku ttiimu eno era basuubira okuwa eggwanga lyabwe obuwanguzi.

 Nigeria - Mozambique

Nigeria esigazza omukisa gumu gw’akulaba nga bawangula omupiira guno bw banaba bakwongera ku mikisa gyabwe okuyiawo okugenda ku luzannya oluddako. Nigeria yakubwa Mali mu gwagulawo ku ggoolo 2-1 nga singa olwaleero bakubwa, bandiwanduka mu mpaka zino.

Micho alabudde abazannyi obutanyooma Zimbabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala