TOP

Ronaldo by'asinze Messi mu 2013

By Musasi Wa

Added 15th January 2014

CRISTIANO Ronaldo yawangudde engule y'obuzannyi bw'omwaka mu nsi yonna (Balon d'or) omulundi ogwokubiri mu myaka etaano. WILLIAMS DAVID KIBANGA akutusaako ensonga ezaamuyambye okumegga Messi ne bassita abalala.

2014 1largeimg215 jan 2014 085709847 703x422CRISTIANO Ronaldo yawangudde engule y'obuzannyi bw'omwaka mu nsi yonna (Balon d'or) omulundi ogwokubiri mu myaka etaano. WILLIAMS DAVID KIBANGA akutusaako ensonga ezaamuyambye okumegga Messi ne bassita abalala.

CRISTIANO Ronaldo owa Real Madrid, yawangudde engule y'obuzannyi bw'omwaka (Balon D'Or) omulundi ogwokubiri. Eyasooka yagiwangulira mu ManU mu 2008.. 

Ronaldo 28, enzaalwa ya Portugal, yamezze Lionel Messi (Barcelona ne Argentina) abadde yaakagiwangula emyaka ena egiddiring'ana wamu ne Franck Ribery (Bayern ne Bufalansa), eyawangula engule y'obuzannyi bwa Bulaaya.

Bino Ronaldo bye yasinzizza Messi ne bassita abalala;

1 Omwaka 2013 Ronaldo yagutandika na ggoolo bbiri ezaayamba Real Madrid okuwangula Sociedad (3-2). 

2 Omwezi gwa February  yagumalako ng'awezezza 'hat-trick' 20 mu mujoozi gwa Real nga 17 ku zo za liigi. 

3 Ronaldo yafuna omukisa oguzannyira mu maka ga ManU, eyamwola, mu Champions League. Ronaldo yasooka n'ateeba ManU mu Bernabeu ate bwe baddingana ku Old Trafford yabaddamu envuunulabibya Real n'ewangula 3-2 omugatte. 

4 Mu El Classico (ensiike ya Real ne Barcelona) mu gwa Copa del Rey, yateeba bbiri n'afuuka omuzannyi asoose okuteeba mu El Classico 6 eziddiring'ana mu kisaawe kya Barcelona ekya Camp Nou.  

5 Mu March, yaweza ggoolo 138 mu La Liga (liigi ya Spain) mu mipiira 127 ne yeegatta ku bateebi 25 abaakasinga mu La Liga. Yayongera n'aweza ggoolo za liigi 30 n'afuuka omuzannyi wa Real asoose okuteeba ggoolo ezisukka 30 mu sizoni ssatu eziddiring'ana.

6  Yateebera Portugal ggoolo zonna ng'eggyamu Sweden okugenda mu World Cup egenda okuyindira e Brazil. Oluzannya olwasooka lwaggwa 1-0 mu Portugal. 

7 Yenkana ne Pauleta ku baakasinga okuteebera Potugal ggoolo ennyingi (48).

Byakoze mu 2013

  • Ateebedde eggwanga lye ggoolo 10 mu mipiira 9
  • Ateebye ggoolo 69. 
  • Akubye 'hat-tricks' 8 (ggoolo essatu essatu mu mupiira ogumu)
  • Muzannyi asinze okuteeba ggoolo ennyingi mu bibinja mu Champions league (9)
  • Muzannyi asinze okuteeba ggoolo ennyingi mu Champions League mu mwaka (14)
Ronaldo y'ani?
 
1 Muteebi wa Real Madrid gye yeegattako mu 2009. Wa myaka 28. 
 
2  Asambiddeko Sporting Gijon ManU gye yamuggya. 
 
3  Alina omukyala 'mmodo' Irina Shayk n'omwana Cristiano Ronaldo Jr. ow'emyaka 3. 
 
4 Y'asinga okusasulwa mu nsi yonna nga buli wiiki afuna pawundi 300,000 (akawumbi kamu n'obukadde 200). 
 
5  Yakateebera Real ggoolo 230 mu mipiira 223.
 
6 Tanywa mwenge nti gwe gwavaako kitaawe okufa n'atalaba ku ngeri gy'acangamu endiba. 
 
7 Okwawukanako n'abazannyi abalala Ronaldo talina tattu yonna ku mubiri gwe.
 

Ronaldo by''asinze Messi mu 2013

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.