TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Misagga agaanyi abazannyi ba Villa okuzannya emipiira gy’embuzi

Misagga agaanyi abazannyi ba Villa okuzannya emipiira gy’embuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2016

OMUZANNYI wa SC Villa anaava ku biragiro bya pulezidenti wa ttiimu eno, Ying. Ben Misagga ayolekedde okugobwa.

Misagga 703x422

OMUZANNYI wa SC Villa anaava ku biragiro bya pulezidenti wa ttiimu eno, Ying. Ben Misagga ayolekedde okugobwa. Eggulo, Misagga yasisinkanye abazannyi be n’abayozaayoza okumalako omwaka 2015 n'okubasiibula okugenda mu luwummula oluvannyuma lw’okumalako ekitundu kya liigi ekisooka. 

Ng’ayogerako gye bali, Misagga yakuutidde abazannyi okwekuuma n’emibiri gyabwe wabula kye yasinze okusimbako essira kwe kugaana abazannyi be okuzannya emipiira gy’embuzi nti er anaakwatibwa, waakugobwa. Oluvannyuma lwa liigi okuwummulamu nga Cranes y’abaguzannyira awaka yeetegekera CHAN, ttiimu ez’enjawulo omuli ne Villa zaasindise abazannyi okuwummulamu nga bwe beetegekera oluzannya olwokubiri.

 "Villa ttiimu ya linnya era okugizannyiramu oba kyakulabirako kirungi eri abazannyi abali mu ttiimu endala. mbasindise mu ggandaalo naye singa nkwata omuzannyi ng’azannya omupiira gw'ekyalo, sirina gwe nja kwebuzaako nga mmugoba kuba nze namukansa," Misagga bwe yategeezezza eggulo (Lwakuna) ku Villa Park. 

Misagga okutabuka kyavudde ku bazannyi ba Villa; Dan Otim n'omukwasi wa ggoolo Steven Odong okwebulankanya mu kutendekebwa nga kigambibwa nti baabadde bazannya mipiira gya Ssekukkulu. Bano baayitiddwa mu kakiiko ka ttiimu eno akakwasisa empisa okubawa ekibonerezo.   

Mu ngeri y'emu Phillip Obwiny, abadde atuula ku kakiiko ka ttiimu eno ak'ebyekikugu eby’okudda ku mulimu bifuuse bizibu Misagga bw’ategeezezza ng’endagaano ye bwe yaweddeko ng’akyalina okwerowooza okumwongera endala. Vally Mugwanya abadde atendeka abakwasi ba ggoolo, yalondeddwa ku bwamaneja bwa Villa. 

Ku mukolo guno Misagga ayayanjudde abazannyi Niocolas Sebwato ne Mike Sserumagga sso nga Mike Ndere azannyira mu BIDCO naye wakwegata ku ttiimu eno okusinziira ku Misagga. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....