TOP

Abazannyi ba KCCA tebakkaanyizza ku magoba ga SACCO yaabwe

By Hussein Bukenya

Added 4th January 2016

Habib Kavuma avunaanyizibwa ku by'ensimbi za SACCO ya tiimu KCCA annyonnyodde ku nkola yaayo

Sac3 703x422

Abazannyi ba KCCA FC. Bangi bajjumbidde SACCO yaabwe.

GIWEZE emyezi esatu bukya KCCA etandika SACCO abazannyi  mwe batereka n’okwewola ensimbi ez’okwekulaakulanya.

HUSSEIN BUKENYA ayogedde ne Habib Kavuma, omuzannyi wa KCCA FC era avunaanyizibwa ku byensimbi mu SACCO eno n’amubuuza we batuuse ne gye balaga:

SACCO yatandika oba nedda?

Sacco eno yatandika okukola era emirimu gitambula bulungi kyokka abazannyi tebaasooka kugijjumbira. Wabula oluvannyuma lw’okubasomesa

omugaso gwayo, kati baterekamu ssente bulungi era emirimu gitambula kinnawadda.

Mbuulira ku bakulira SACCO eno?

Akakiiko kayo kaliko abantu bataano nga kakulirwa David Tamale, akulira emirimu mu kiraabu ya KCCA FC, n’amyukibwa Saka Mpiima (kapiteeni wa KCCA FC), Habib Kavuma nze nkola ku byensimbi ate Paul Mucureezi kati y’akola ng’omuwandiisi oluvannyuma lwa

Mike Birungi okwabulira ttiimu. John Luyinda ne Abdallah Mubiru eyaliko omutendesi waffe bammemba ku kakiiko kano.

Okubeera mu SACCO kwa buwaze eri buli muzannyi wa KCCA

FC? Okubeera mu SACCO eno si kwa buwaze. Omuzannyi ayagadde, alina kusooka kwewandiisa n’afuuka mmemba.

Abeewoze bazzaayo batya ssente?

Wano we wakyali obuzibu kuba twasalawo omuntu okukomyawo ssente nga kuliko amagoba ga bitundu 16 ku buli 100 kyokka abazannyi bakyakigaanyi nti waakiri zibeere ntono okusinga kw’ezo. Waliwo abamu abakikkirizza, bo nga bagamba nti kuba kweterekera sso ng’abakiwakanya bagamba nti enteekateeka eno yaleetebwa kuyamba muntu kubeera bulungi nti ate lwaki baggyibwako amagoba mangi.

B’ani abakkirizibwa okwewolayo?

Buli muntu akkirizibwa okwewola mu SACCO eno. Bakama baffe aba KCCA baatuteerawo SACCO tuganyulwemu kyokka tekugira muntu yenna ava bweru ssinga atuukiriza ebyetaago by’okugibeeramu.

Omuzannyi yeewandiisa n’emitwalo ebiri egy’okugula emigabo ate ow’ebweru okugula omugabo gumu ssente nga kuliko amagoba ga bitundu 16 ku buli 100 kyokka abazannyi bakyakigaanyi nti waakiri zibeere ntono okusinga kw’ezo.

 Waliwo abamu abakikkirizza, bo nga bagamba nti kuba kweterekera sso ng’abakiwakanya bagamba nti enteekateeka eno yaleetebwa kuyamba muntu kubeera bulungi nti ate lwaki baggyibwako amagoba mangi.

B’ani abakkirizibwa okwewolayo?

Buli muntu akkirizibwa okwewola mu SACCO eno. Bakama baffe aba KCCA baatuteerawo SACCO tuganyulwemu kyokka tekugira muntu yenna ava bweru ssinga atuukiriza ebyetaago by’okugibeeramu.

Omuzannyi yeewandiisa n’emitwalo ebiri egy’okugula emigabo ate ow’ebweru okugula omugabo gumu alina kuwa 50,000 kyokka ono ava ebweru ye aliko akakwakkulizo mu kaseera k’okumuwola kuba tuba tetulina bukakafu nti bw’atwala ssente zaffe anaazikomyawo.

Omuntu yenna ow’ebweru oba omuwagizi okusobola okwewola, alina okutuwa omusingo ogusinga ku ssente z’ayagala okwewola. Ekyo bwe kimulema ng’afuna omuzannyi waffe ali mu SACCO eno ng’ate endagaano ye ekyali mpanvu

ng’egya mu ssente omuntu oyo z’ayagala okutwala.

Musinziira ku ki okuwola?

Akakwakkulizo akasooka, omuzannyi alina okuba ng’endagaano ye mpanvu ekimala oba nga ssente z’ayagala okwewola tezisukka mu ndagaano ye ne kiraabu kuba endagaano

gye tukozesa ng’omusingo gw’omuzannyi ayagala okwewola.

Bammemba beewola kutuuka ku

ssente mmeka?

Twakkiriziganya tuleme kuggyamu ssente okutuusa emyezi lwe ginaawera omukaaga bukya tutandika

SACCO eno. Mu kaseera kano tetukkirizibwa kwewola okutuusa ng’emyezi mukaaga giweddeko kuba twagala tusooke tumalirize emisoso gy’abantu okugula emigabo. Abantu bajja kwewola ng’emyezi gino giweddeko.

Omuzannyi bw’agobwa ng’akyabanjibwa SACCO, mukola mutya?

Ekisooka, ffe okuwola omuzannyi tusooka kutunula mu buwanvu bwa ndagaano ye ne tubala ssente ezirimuera bwe tuba tumuwola tetuzisussa.

Ffe ng’abakulira SACCO tukola gwaffe ne kiraabu n’eko ng’akyalina endagaano, kitegeeza nti ssente ze kwe tusooka okusala. Abakulira kiraabu  kino bakimanyi era bwe bamugoba, tuba tulina okukwatagana nabo ku nsonga eno.

Ekisanja kyammwe abaddukanya SACCO kiggwaako ddi?

Bwe baali batulonda baatugamba nti tugenda kukola ekisanja kya mwaka gumu era bwe guggwaako nga tulonda abantu abalala oba okuzzaako ababaddeko ssinga babeera bakoze bulungi.

Akakiiko akakulira SACCO katuula ddi?

SACCO yaffe mpandiise mu mateeka nga kkampuni, ate nga tewali kkampuni etetuuza nkiiko. Tutuula buli Lwakuna okulaba engeri emirimu gye gitambuddemu n’okwogera ku bizibu bye tusanze ng’abaakakiiko.

Abakozi mufuna omusaala?

Omulimu guno tugukola lwa kwagala era eby’omusaala tetunnabirowoozaako. Olw’okuba tutandika butandisi, ‘bbanka’ yaffe bwe tugiggyamu amangu ssente, twandyesanga nga tugudde ate ekitali kirungi. Omusaala tusuubira kugufuna oluvannyuma lwa myezi mukaaga nga tumaze okulaba bwe bitambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...