TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kallisizo FC eteebye ggoolo 8 n’ewangula sseddume w’ente

Kallisizo FC eteebye ggoolo 8 n’ewangula sseddume w’ente

By John Bosco Mulyowa

Added 4th January 2016

Aba Kaliisizo baaweereddwa sseddume w’ente oluvannyuma lw’okuwuttula Njeru FC ku ggoolo 8-0.

Nte2 703x422

Abawagizi n’abazannyi ba Kaliisizo nga bakubira ente gye baafunye mu ngalo.

Kaliisizo FC 8-0 Njeru FC

TTIIMU ya Kaliisizo FC ye yawangudde ekikopo kya ‘Kankaka End of Year Cup’ eyabadde emalako omwaka 2015 n'okwaniriza omuggya ogwa 2016.

Ekikopo kino ekizannyibwa buli mwaka, kibadde kiyindira ku kisaawe e Kaliisizo mu ssaza ly’e Kyotera mu Rakai nga kisasulirwa munnamateeka David Kankaka.

Aba Kaliisizo baaweereddwa sseddume w’ente oluvannyuma lw’okuwuttula Njeru FC ku ggoolo 8-0. Abazannyi ba Njeru, abaabadde batobye obuswavu bw’okumira ggoolo ennyingi, baakwaasiddwa kimeeme w’embuzi.

Looya Kankaka yagambye nti waakwongera okutumbula emizannyo mu Kyotera n’ebitundu ebiriraanyeewo n’asaba n’abantu abalala naddala bannabyabufuzi abeesimbyewo nabo okufaayo ku mizannyo bwe batuukanga mu bifo by’obukulembeze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...