TOP

Ttiimu ya KCCA bagiyiyeemu kavu wa bukadde 750

By Moses Kigongo

Added 4th January 2016

KCCA egudde mu kavu wa ssente

Ca2 703x422

Magogo ku kkono, omukungu wa Prime media wakati ne Jenniffer Musisis

TTIIMU ya KCCA eyongedde oggwa mu bintu bwe funye obukadde obulala 750 okuva mu kkampuni ya Prime Media.

Eno ye Kampuni ey’okubiri mu bbanga lya mwaka gumu okussa ssente mu Ttiimu ya KCCA era ng’eyasooka yali ya Star times.

Ettu lino lwanjuddwa akulira ekitongole kya KCCA mukyala Jennifer Musisi ku kabaga akaategekeddwa ku wooteeri ya Imperial Royal akaategekeddwa okunyweza enkolagana wakati wa Tiimu ya KCCA ne ne bamusiga nsimbi abassa ssente mu ttiimu ya KCCA.

“Tuli basanyufu olwa kampuni nga Prime Media okuvAayo ne yegatta ku Star times okutandika okuteekamu ssente kubanga KCCA FC ye ttiimu yokka mu Uganda erina ebisaanyizo byonna ebisikiriza siponsa yenna okutandika okukolagana nayo mu by’okulanga.

 Era ndi musanyufu nti embeera eno egenda kutugyako puleesa y’okusakiriranga ttiimu ssente buli kiseera nga bwe tubadde tukola era nsuubira nti kati tugenda kussa ekikkowe era tufune  ku buweerero”,bwatyo Musisis bwe yategeezezza.

 Ku mukolo gw’egumu Mike Mutebi kwe yayanjulidde Dennis Okoth nga kapiteeni wa KCCA omujjuvu wamu n’omumyuka we Joseph Ochaya.

Omukolo gwetabiddwako abaaliko abazannyi ba KCCA bakulembeddwamu Frank Kyazze Ssali Ggoogolimbo ne Tom Lwanga,abakungu ba star Times abakulembedwa Aldrine Nsubuga,abakungu ba FSL ne FUFA abakulembeddwa Arinaitwe Lugyendo ne Moses Magogo eyebazizza KCCA olw’okubeera kiraabu esinze okutuukiriza ebisanyizo bya FUFA ebigenda okuyamba okuzimba omupiira gwa Uganda nga ne pulojekiti ye eya 2019 mwogitwalidde.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.