TOP

Bbaale Mugera atabudde abawagizi ba Express; Azizza Ntalazi

By Hussein Bukenya

Added 6th January 2016

Beesambye obukulu bwa Express

Bale2 703x422

Bbaale Mugera

PULEZIDENTI wa Express FC, Vincent Bbaale Mugera atabudde abawagizi bw’alagidde Francis Ntalazi adde ku bwassentebe bwa ttiimu eno mangu ddala.

Kino kiddiridde Ntalazi okusuulawo ttiimu ku nkomerero y’omwezi oguwedde oluvannyuma lw’abamu ku bawagizi okumulumiriza nga bw’atalina gy’agitwala olw’omutindo omubi gw’eriko n’emivuyo egigyetobeseemu.

Mu kaseera kano, abazannyi ba Express bana bagyabulidde sso ng’abalala basatu baagala kugyabulira nga bagamba nti bakooye okukolera ebitole by’emmere olw’abakungu ba ttiimu eyo okuba nga tebabasasula.

Ceaser Okhuti, eyayanjuddwa mu KCCA ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, yategeezezza abaamawulire nga bw’awonye ennaku ya Express ebadde temusasula ate ng’eyagala agizannyire afiirewo.

Ensonda zaategeezezza nti, ekyavudeko okukomyawo Ntalazi kya kuba nti abantu bonna abawagizi be basemba ku bwassentebe, baatidde obuvunaanyibwa obwo nga bagamba nti baagala kukolera wansi wa ssentebe anaaba alondeddwa.

Mu kafubo abakungu ba Express ke baabaddemu gye buvuddeko, baakavuddemu bakkaanyizza nti Ntalazi agezezzaako okukola nga si kirungi kumala gamusindiikiriza.tambula bulungi ng’abawagizi bwe baagala naye obukulembeze bwa Ntalazi tukyabwetaaga kuba agyagala ate takoowangako kugikolerera. Tuwe Ntalazi obudde, ttiimu tujja kugitereeza,” omu ku bakungu ba Express bwe yategeezezza.

Nga liigi yaakatandika Express yazannya emipiira mwenda nga tewanguddwaamu ne kirowoozesa abawagizi nti basobola okutwala kyokka mu mipiira etaano egisembyeyo, omutindo gwayo gubadde gukaabya sso nga n’abamu ku bazannyi bagyabulidde abawagizi kye bagamba nti bunafu bwa Ntalazi.

ABAMU KU BANTU ABAWAGIZI  BE BAAGALA ku bwassentebe;

JOSEPH GONZAGA
Yaliko maneja wa ttiimu eno n’okukola nga ku ndabirira y’abazannyi mu sizoni ya 2011/2012 ne bawangula ekikopo kya USL. Gonzaga yategeezezza nti kituufu baamutuukiridde ne bamusaba okutwala obukulembeze bwa ttiimu kyokka wakyaliwo ensonga z’omunda z’akyayagala okwetegereza. Yayongeddeko nti mu kaseera kano, Express ekyalimu entalo nnyingi z’atandyagadde kuyingiramu nga tezinnagonjoolwa.

“Okuva nga nkyasoma, mpagira Express era ssente ze ngitaddemu mpitirivu kuba n’okutuuka okutwala ekikopo ku mulembe gwa Kabenge nga nze omu abaateekanga mu ssente. Okuva olwo nkyateekamu era omutendesi Wasswa Bbosa anjulira kuba tusisinakana nnyo nga twogera ku nsonga ezitwala ttiimu,” Gonzaga bwe yategeezezza.

HAJJI MUSA SEWAVA;
Yaliko omumyuka wa pulezidenti wa ttiimu eno. Yagambye nti, “Ekituufu eby’okumpa obukulembeze ba ttiimu mbiwulira buwulizi tewannabaawo antuukirira kyokka nnina emirimi mingi nnyo nga si kyangu kuddamu kwemalira mu bukulembeze bwa mupiira.

Nze ku Express sivangayo era obuyambi mbuwaayo bulijjo kyokka ekintamyayo bwe buvuyo obususse, okulwanira obukulembeze n’okuyeekeregana. Obukulu sibwagala naye nja kukolagana n’omukulembeze yenna anaalondebwa ate nsaba abawagizi babeere n’obuvunaanyizibwa ku mukulembeze waabwe.

NTALAZI AYOGEDDE
Kye nayogera nti obukulembeze mbumazze nkyakiriko lwa kuba Omulangira Kassim Nakibinge ne Bbaale Mugera bakyannemeddeko. Ttiimu nange emmenya kuba sisobola kugitwala mu maaso nzekka. Njagala tufune abantu abalala nabo bakwatemu nange mpagirireko ebbali.

Sisobola kujeemera bakama bange ng’enda kusigalawo nga bwe ndaba embeera eddako. Nayogerezaako John Kitenda naye bye twayogera tebyali byangu sso nga Kavuma Kabenge naye namulowozaako kyokka wakyaliwo ebyetaaga okutereeza.

SIMON SEKANKYA (OWA HARDWARE WORLD)
Guno mulundi gwakubiri nga nneesamba obukulembeze bwa Express kubanga obuyambi bwe banneetaaza mbubawa era nja kwongera okububawa obuyambi bwe bwe baneetaaza mbubawa era nja kwongera okububawa kyokka okukulembera ttiimu kikafuuwe.

Obulamu bwange saagala kukola kintu ne kigaana kuba sirina budde buddukanya mupiira.

KABENGE KY’AGAMBA
Okulekawo Ntalazi tekimalaawo buzibu bwa Express. Ttiimu yeetaaga omuntu ng’asobola okugisakirira ssente n’okuleeta basiponsa. Bwe batakola ekyo tugenda kusigala mu maziga okutuusa bwe tulifuna abantu abalina obusobozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akung'ana ne...

Ebyaviiriddeko Rema akung'ana ne Evans