TOP

Abanaavuga ez’e Mbarara baweereddwa ebiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2016

KIRAABU ya Mbarara Motor Club, etegeka empaka z’emmotoka eziggulawo kalenda y’omwaka, ewadde abavuzi bonna ebiragiro olw’okwewala obubenje.

Kataka 703x422

KIRAABU ya Mbarara Motor Club, etegeka empaka z’emmotoka eziggulawo kalenda y’omwaka, ewadde abavuzi bonna ebiragiro olw’okwewala obubenje.

Pulezidenti wa kiraabu eno, Hamid Gombe, alagidde abavuzi bonna okulambula amakubo empaka mwe zinaayindira, okuziyiza obubenje oluusi omufiira abantu nga kiva ku bavuzi butamanya makubo.

Yagasseeko nti oyo yenna anaajeemera ekiragiro kino, tajja kuvuga.

Ng’ayogera eri abaamawulire ku ofiisi ze mu Ndeeba, yayanjudde pulogulaamu y’empaka zino ezituumiddwa ‘Pearl Uganda Mbarara Rally’ eza kkirommita 444.4.

Emmotoka ba kuzikeberera Masaka nga January 29, 2016 era bavugireyo ez’akafubutuko ku Pine Ridge nga January 30 ate enkeera bagende e Mbarara.

Nnantameggwa wa 2015, Arthur Blick Jr y’agenda okusimbulwa mu kifo ekisooka ng’addiriddwa Ronald Sebuguzi, Duncan Mubiru ‘Kikankane’ n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...