TOP

Olugoba oluteebi olwa ttiimu ya CHAN lubobbya Micho omutwe

By Hussein Bukenya

Added 10th January 2016

Ekitongole ekisinga okubaamu kalumannywera lwe lugoba oluteebi okuli; Robert Ssentongo, Geoffrey Sserunkuuma, Frank Kalanda, Ceasar Okhuti, Francis Olaki ne Erisa Sekisambu nga ku bonna Micho yeetaagako babiri bokka.

Sing1 703x422

Micho (ku kkono) ng’awa abazannyi ebiragiro mu kutendekebwa e Njeru eggulo (Lwamukaaga).

Leero mu gw’omukwano: 

Uganda - Gabon e Njeru,
(Azam TV, 10:00)
Ku Lwokusatu;
Uganda - Cameroon, 10:00

ABAZANNYI ba Cranes bali mu kattu nga buli omu alwana kulaba ng’alondebwa mu ttiimu etandika mu mpaka za CHAN.

Eggulo (Lwamukaaga), omutendesi Micho Sredojevic yategeezezza Bukedde nti tannafuna ttiimu etandika era buli muzannyi alina okwerwanako ku mupiira gwa Gabon leero (Ssande) amukakase bwe banaaba batuuse e Rwanda. Ng’oggyeeko ogwa Gabon, Micho yategeezezza nti ne ku mupiira gwa Cameroon ku Lwokusatu, ajja kwongera okuwa abazannyi obudde balage kye basobola.

Ekitongole ekisinga okubaamu kalumannywera lwe lugoba oluteebi okuli; Robert Ssentongo, Geoffrey Sserunkuuma, Frank Kalanda, Ceasar Okhuti, Francis Olaki ne Erisa Sekisambu nga ku bonna Micho yeetaagako babiri bokka.

Okhuti, yalaze omutindo mu za CECAFA mu Ethiopa, Sserunkuuma ne Ssentongo baludde ku ttiimu y’eggwanga, Olaki yazannya mu CHAN eyasembayo e South Afrika sso nga Ssekisambu y’omu ku bazannyi abaayisaamu Cranes mu z’omulundi guno.

Abazannyi bano bonna bali ku mutindo mu ttiimu zaabwe. Ssentongo y’akulembedde abateebi mu liigi ne ggoolo mwenda, Okhuti waakubiri ne ggoolo munaana, Ssekisambu ali ku musanvu, Kalanda ali ku ttaano ne Sserunkuuma alina nnya ekyongera okuwa Micho akaseera akazibu.

“Ttiimu yange si ya kikwate nti gye nnazannyisa luli ne ku luno gye ng’enda okuzannyisa. Buli muzannyi alina omukisa okwerwanako ku buli mupiira era kye nninze okulaba ne mu guno,” Micho bwe yategeezezza.

Ssentongo ye mumyuka wa kapiteeni;

Mu ngeri y’emu, Micho yalonze Ssentongo ku bumyuka bwa kapiteeni bwa ttiimu ya CHAN. Ssentongo, ye yali kapiteeni omujjuvu wabula bwe yagobwa mu nkambi, Farouk Miya (kapiteeni omujjuvu) n’alyawo ekifo kye. Joseph Ochaya yalondeddwa ng’omumyuka wa kapiteeni owookubiri.

Aba Gabon bataka mu ggwanga;

Ku Lwokutaano, ttiimu ya Gabon lwe yatuuse mu ggwanga era yasuze mu wooteeri ya Jinja Ci’Sand Suites mu kibuga Jinja nga beetegekera ensiike yaabwe ne Cranes.

Omutendesi waabwe, Stephane Bounguendz enzaalwa y’e Gabon yategeezezza nti baasazeewo okuzannya ne Uganda kubanga ttiimu ya maanyi era ekuwa okwegezaamu okw’omuzinzi.

Bounguendz yategeezezza nti embeera y’obudde mu Uganda efaananira ddala n’eya Rwanda.
Uganda eri mu kibinja D omuli; Zimbabwe, Zambia ne Mali ng’eggulawo ne Mali (January 19).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja