TOP

Liigi ya Rugby etandise na bbugumu

By Silvano Kibuuka

Added 10th January 2016

Heathens ye yasoose okulya empanga n’eweza obubonero 10-0 mu ddakiika 20 ezaasoose wabula Pirates n’eva emabega ng’eyita mu bamusayimuto baayo; Haruna Mohammed ne Brian Ochan okuyunga Heathens eyamazeeko ekitundu ekisooka ng’ekulembedde 10-07.

Rugby1 703x422

Asuman Mugerwa owa Hiuma Heathens ng'akutte omupiira bwe babadde basindana ne Black Panthers mu liigi ku kisaawe kya Kyadondo. Baalemaganye 17-17. (ekif: Silvano Kibuuka)

Hima Heathens 17  Black Pirates 17

Betway Kobs 62 Warriors 08

Abakaazi:

Thunderbirds 28 Black Panthers 00

Liigi y’eggwanga eya Rugby etandise na bbugumu oluvannyuma lwa ba kyampiyoni b’omwaka oguwedde okusanga obuzibu okuwangula omuzannyo gwabwe ogusoose nga balemaganye ne  Black Pirates abaakwata ekyokusatu.

Heathens ye yasoose okulya empanga n’eweza obubonero 10-0 mu ddakiika 20 ezaasoose wabula Pirates n’eva emabega ng’eyita mu bamusayimuto baayo; Haruna Mohammed ne Brian Ochan okuyunga Heathens eyamazeeko ekitundu ekisooka ng’ekulembedde 10-07.

Ekitundu ekyokubiri Pirates yateebye peneti ne basibagana 10-10.

Mu ddakiika ey'e 70, Heathens yateebye n’efuna obubonero 17 wabula yabadde ebula ttaano ne Pirates n’eyunga omuzannyo ogwalamuddwa ddiifiri Collins Mulindwa (amanyiddwa nga Afande Kerekere mu katemba) ne guggwa 17-17.

Bwe baasemba okusisinkana omwaka oguwedde, Heathens yawangula 17-12.

Ggwo ogw’abakazi tegwazannyiddwa abalina ekikopo aba Thunderbirds obubonero ne babufunira  ku mukeeka Black Panthers bwe bataalabiseeko ne beekwasa okumanya mupiira guno ekikeerezi.

Enzannya endala zaabadde Gulu ne ku kisaawe kya Makerere University.

Enzannya za liigi ziddamu mu Lwomukaaga lwa wiiki ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze