TOP

Farouk Daku awera kuwuttula Muzungu amukeese ebikonde

By Silvano Kibuuka

Added 15th January 2016

Omuggunzi w’ebikonde mu by’ensimbi, Farouk Daku agumizza Bannayuganda n’abawagizi be mu nsi yonna nti agenda kufutiza Jozsef Karmony owa Hungary mu lulwana okutegekeddwa enkya ku Lwomukaaga mu kisaawe e Nakivubo nga balwanira omusipi gw’ensi yonna ogwa World Boxing Forum.

Talk 703x422

Frouk Daku ne Jozsef Karmony nga balaga omusipi gwe bagenda okulwanira mu bikonde. (ekif:Silvano Kibuuka)

Farouk Daku (Ug) v Jozsef Karmony (Hung)

Engule: World Boxing Forum (WBF)

 

Omuggunzi w’ebikonde mu by’ensimbi, Farouk Daku agumizza Bannayuganda n’abawagizi be mu nsi yonna nti agenda kufutiza Jozsef Karmony owa Hungary mu lulwana okutegekeddwa enkya ku Lwomukaaga mu kisaawe e Nakivubo nga balwanira omusipi gw’ensi yonna ogwa World Boxing Forum.

 

Omusipi guno ogw’obuzito bwa Super Middleweight teguliiko agulina.

 

Abalwanyi bombi bapimwa leero e Nakivubo awagenda okubeera ensiitaano nga bateekeddwa okubeera mu kkiro 76 era nga bombi basuubizza nti batuukana n’obuzito obwo.

 

Bombi baasoose kulabaganirako ku woteeri ya HBK ku Old Kampala buli omu n’awera nga bwe yeetaaga omusipi ogwo ogutegekebwa okuva mu kibuga Florida ekya Amerika.

 

“Mmaze ebbanga mu Amsterdam ekya Holland gye mbeera nga beetegekera okulwana luno ate bwe natuuse e Ntebe ne nsanga abawagizi bange nga bannindiridde n’essanyu ne bannyongera amaanyi. Omusipi guteekeddwa okusigala mu Uganda. Nja kwewaayo n’omutima n’obwagazi. Oluusi twogera naye ne tulemwa okutuukiriza wabula nze mbakakasa nti nja kukola eky’amaanyi," Daku bwe yategeezezza.

 

Daku yagambye nti wadde nga yawanguddwa mu lulwana lwe olwasembyeyo mu Holland bwe yakubiddwa Josemyr Puolino, amanyi ekyamuwanguzza era tekijja kubaawo.

 

“Nnali nnina okusala obuzito okutuuka mu kiro 71 nga nnali nnina okufiirwa amaanyi mangi ne kinsumbuwa kwe kuwangulwa. Naye ku muno ndi mu buzito bwange bwennyini,” Daku bwe yategeezezza.

 

Daku alina enwana 28 kw’awangudde 19 n’awangulwa mwenda ate n’alemaganwa bbiri. Karmony alina enwana 33 kw’awangudde 12 n’awangulwa 19 ate n’amelaganwa bbiri.

 

Abalwanira emisipi abalala abagenda ku minzaani leero kwe kuli Medi Sebyala Kabona (Uganda) ne Ibrahim Tamba (Tanzania) nga basindanira ogwa East and Central Africa wamu ne Charles Mulindwa ne Richard Ndifuna nga balwanira ogwa Uganda.

 

Mu bitali bya musipi kuliko Mudde Ntambi ne Remmy Yiga, Joseph SPC Nteza ne Robert Semboze wamu ne Dr. Joseph Sentongo ne Musa Hitman Ntege.

 

Bitegekeddwa aba Malingumu Promotion wamu ne Uganda Sports Promition, Uganda Professional Boxing Commission, Africa Boxing Union ne World Boxing Forum.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...