TOP

Micho mugumu wadde alwazizza omuteebi

By Hussein Bukenya

Added 16th January 2016

Omuzannyi wa Cranes Francis Olaki afunye obuvune n'ava ku ttiimu egenda okuzannya ez'Afrika

Ol2 703x422

Francis Olaki

Leero (Lwamukaaga) mu CHAN:

Rwanda - Ivory Coast, 9:00 SS9,

Select (GOtv) Gabon - Morocco, 12:00 SS9

OMUTEEBI wa Cranes Francis Olaki afunye obuvune n’ava ku ttiimu egenda okuzannya empaka za Afrika ez’abasambi abaguzannyira awaka (CHAN), ezitandika leero mu kibuga Kigali ekya Rwanda.

Omusawo wa ttiimu eno, Ronald Kisolo ategeezezza nti Olaki yalwadde nga Cranes eremagana ne Gabon 1-1 mu kisaawe ky’ekiwempe e Njeru era obuvune tebumusobozesezza kweyongerayo, omutendesi Milutin ‘Micho’ Sredojevic kwe kusalawo okumusuula.

Olaki asikiziddwa Edris Lubega owa Proline, ng’ono y’akulembedde abateebi mu Big League ne ggoolo 12. Micho yagambye nti amulinamu obwesige wadde talina nnyo bumanyirivu. Olaki y’abadde omuzannyi owookusatu ku bali ku Crtanes kati abaali bazannyeeko ku mpaka zino, ng’abalala kuliko; Ivan Ntege ne Robert Sentongo abaazannya eza 2014 e South Afrika.

Wadde Micho yali yamala dda okuwaayo mu CAF olukalala lw’abazannyi 23 b’agenda okukozesa mu CHAN, omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, yategeezezza nti baakyusizza mangu ne bassaawo omuzannyi omulala ng’amateeka bwe gabakkiriza ssinga ttiimu ebeera tennazannya mupiira gwayo gusooka.

Leero (Lwamukaaga) ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo, Cranes lw’esitula ng’erimu ekibinja ky’abantu 30 okugenda e Rwanda mu CHAN. Empaka zino zitandika leero kyokka Cranes ya kuzannya omupiira gwayo ogusooka ku Lwokubiri nga January 19, 2016 ne Mali

Leero (Lwamukaaga) mu CHAN: Rwanda - Ivory Coast, 9:00 SS9, Select (GOtv) Gabon - Morocco, 12:00 SS9 OMUTEEBI wa Cranes Francis Olaki afunye obuvune n’ava ku ttiimu egenda okuzannya empaka za Afrika ez’abasambi abaguzannyira awaka (CHAN), ezitandika leero mu kibuga Kigali ekya Rwanda. Omusawo wa ttiimu eno, Ronald Kisolo ategeezezza nti Olaki yalwadde nga Cranes eremagana ne Gabon 1-1 mu kisaawe ky’ekiwempe e Njeru era obuvune tebumusobozesezza kweyongerayo, omutendesi Milutin ‘Micho’ Sredojevic kwe kusalawo okumusuula. Olaki asikiziddwa Edris Lubega owa Proline, ng’ono y’akulembedde abateebi mu Big League ne ggoolo 12. Micho yagambye nti amulinamu obwesige wadde talina nnyo bumanyirivu. Olaki y’abadde omuzannyi owookusatu ku bali ku Crtanes kati abaali bazannyeeko ku mpaka zino, ng’abalala kuliko; Ivan Ntege ne Robert Sentongo abaazannya eza 2014 e South Afrika. Wadde Micho yali yamala dda okuwaayo mu CAF olukalala lw’abazannyi 23 b’agenda okukozesa mu CHAN, omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, yategeezezza nti baakyusizza mangu ne bassaawo omuzannyi omulala ng’amateeka bwe gabakkiriza ssinga ttiimu ebeera tennazannya mupiira gwayo gusooka. Leero (Lwamukaaga) ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo, Cranes lw’esitula ng’erimu ekibinja ky’abantu 30 okugenda e Rwanda mu CHAN. Empaka zino zitandika leero kyokka Cranes ya kuzannya omupiira gwayo ogusooka ku Lwokubiri nga January 19, 2016 ne Mali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...