TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Emikisa gya Farouk Miya okusambirako mu Premier League gye yerudde

Emikisa gya Farouk Miya okusambirako mu Premier League gye yerudde

By Hussein Bukenya

Added 23rd January 2016

Ssentebe wa Vipers, Thadius Kitandwe, yategeezezza nti Miya yaguliddwa doola 400,000 (eza Uganda akawumbi kamu n’obukadde 300).

Yamba 703x422

Miya yaakasambira Cranes emipiira 24 ne ggoolo 14.

Leero mu CHAN:

Zimbabwe - Mali, 9:00 SS9

Uganda - Zambia, 12:00 SS9, Select (GOtv)

EMIKISA gya Farouk Miya okusambirako mu Premier gyeyerudde nga yaakassaawo likodi ya Munnayuganda akyasinze okugulwa ssente ennyingi okwegatta ku kiraabu ebweru.

Kino kiddiridde Miya, 19, owa Vipers era kapiteeni wa Cranes eri mu CHAN, okwegatta ku Standard Liege ey’omu liigi ya Belgium.

Ssentebe wa Vipers, Thadius Kitandwe, yategeezezza nti Miya yaguliddwa doola 400,000 (eza Uganda akawumbi kamu n’obukadde 300).

Standard Liege, eyaakawangula liigi y’e Belgium enfunda 10, kati eri mu kyamusanvu ku ‘ttebo’ ekitangaaza emikisa gyayo okukiika mu mpaka za Bulaaya (Champions League ne Europa). Kino kitegeeza nti Miya omukisa gw’ayolekedde munene okulabibwa kiraabu eziwerako mu Bulaaya omuli n’eza Premier.

Abazannyi bangi abaakidde mu kiraabu z’e Belgium ne bagulwa butereevu ttiimu z’omu Premier. Mu bano mwe muli; Marouane Fellaini (eyayakira mu Standard Liege), Christian Benteke (Standard Liege ne Genk) Kevin De Bruyne (Genk), Romelu Lukaku (Anderlecht), Mousa Dembele (Beerschot), Simon Mignolet (Sint-Truiden), Vincent Kompany (Anderlecht) n’abalala.

Mu ttiimu y’emu eya Standard Liege, ManU mw’eyazise omukwasi wa ggoolo Victor Valdes sso nga mwe muli Sambou Yatabaré (Mali), Eyong Enoh (Cameroon) ne Ben Tetteh (Ghana).

Mu kiseera kino Belgium ye nnamba emu mu kucanga akapiira okusinziira ku nsengeka za FIFA, ekyongera okutangaaza emikisa gy’abazannyi b’omu liigi yaayo okusambirako mu liigi ez’amaanyi nga Premier, La Liga, Bundesliga, Serie A n’awalala.

OMUTENDESI wa Vipers amu labudde Omutendesi Edward Golola (Vipers) agambye nti alina essuubi lingi mu Miya wabula n’amuwa amagezi okusamba n’amaanyi aleme kuswaza Vipers ng’abazannyi abalala bwe babadde bakola nga batundiddwa ebweru.

Abamu ku bazannyi abavudde mu Vipers ne bibookera ebweru mwe muli; Mike Mutyaba (Al-Merrikh mu Sudan ne TP Mazembe eya DR Congo), Godfrey Walusimbi (Don Bosco eya DR Congo), Sadam Juma, Caesar Okhuti, Hakim Ssenkumba n’abalala.

Miya abuusibwabuusibwa (olw’obuvune) okusamba ogwa Cranes leero ng’ettunka ne Zambia mu kibinja D ekya CHAN e Rwanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we