TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kabaka asiimye Kabushenga asigale ku lukiiko lw’emisinde gy’Amazaalibwa ge

Kabaka asiimye Kabushenga asigale ku lukiiko lw’emisinde gy’Amazaalibwa ge

By Dickson Kulumba

Added 24th January 2016

Nga April 10, 2016 emisinde gino mubunabyalo lwe gijja okubeerawo nga gikulembera omukolo gw’Amazaalibwa ge ogunaabeerawo nga April 13 ku ssomero lya Kings College Buddo mu ssaza ly’e Busiro.

Maganda 703x422

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Mutebi yasiimye akulira kkampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga asigale ku bwassentebe bw’olukiiko olutegeka emisinde gy’Amazaalibwa ge.

Nga April 10, 2016 emisinde gino mubunabyalo lwe gijja okubeerawo nga gikulembera omukolo gw’Amazaalibwa ge ogunaabeerawo nga April 13 ku ssomero lya Kings College Buddo mu ssaza ly’e Busiro.

Ng’atongoza olukiiko olunaakola ku misinde gya Kabaka ku Lwokutaano ku Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasiimye enteekateeka y’emisinde gino ey’omwaka oguwedde n’agamba nti olukiiko olwategeka lusaana okuddamu lutegeke.

Omulamwa gw’emisinde guno gwa kulwanyisa kirwadde kya kutonnya mu bakyala nga bwe gwali omwaka oguwedde.

Mayiga yagambye nti mu myaka esatu Obwakabaka bwasalawo bulwanyise ekirwadde ky’okutonnya olwo omwaka ogujja kaweefube assibwe ku kulwanyisa obulwadde bwa siikosseero.

Omukolo gw’Amazaalibwa ga Kabaka guno gwakubeerako emizannyo emirala okuli golf, squash n’obugaali bw’empaka mu kaweefube w’okulaba ng’abantu ba Kabaka beetaba mu mukolo guno.

Guno gugenda kuba mulundi gwakusatu ng’emisinde gino giddukibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.