TOP

New Vision FC erwanira luzannya lwa ttiimu 16

By Moses Kigongo

Added 26th January 2016

New Vision FC erwanira luzannya lwa ttiimu 16

Vi2 703x422

Abazannyi ba Friends of Soccer nga babuuza ku ttiimu ya New Vision.

Friends of Soccer 0-1 New Vision Wandegeya 2-0 Industrial Area KASE Garage 1-2 Wakiso United OLUVANNYUMA lw'okuggyamu Friends of Soccer ey'e Fort Portal (1-0), New Vision FC kati obwanga ebwolekezza Busia Fisheries ezannyira mu Big League gy'egenda okukyalira nga February 14 e Busia.

Ku Lwomukaaga, New Vision yalaze eryanyi bwe yawangudde bannyinimu aba Friends of Soccer n'ereka abawagizi baayo abaabadde abangi ku kisaawe ky'e Buhinga e Fort Portal nga beewuunya.

Oluvannyuma lw'omupiira, omutendesi Abdallah Mubiru yagambye nti kati batunuulidde Busia Fisheries, eyawangudde Seeta United ku peneti 5-4 kuba si ntene.

Mu mipiira emirala, SC Villa yawangudde Future Stars eya Kampala Region ggoolo 3-0 sso nga CRO yawangudde Proline ggoolo (2-1). "Ndi musanyufu olw'okutuukiriza ekisuubizo kye nawa abawagizi baffe nti tujja kufuna obuwanguzi era mbasaba bagende mu maaso n'okutussaamu obwesige," Mubiru bwe yategeezeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze