TOP

Cranes eri ku ssaala ku gwa Zimbabwe mu CHAN

By Hussein Bukenya

Added 27th January 2016

Cranes eri ku ssaala ku gwa Zimbabwe mu CHAN

Mic2 703x422

Micho

Bya HUSSEIN BUKENYA

Leero mu za CHAN: Cranes - Zimbabwe, 11:00 SS9

Zambia - Mali, 11:00 Select

CRANES ne ku mulundi guno eyingidde ensiike ya CHAN esembayo mu kibinja ng’eri ku ssaala nga bwe kizze kibeera mu mpaka endala.

Leero ettunka ne Zimbabwe ng’omutendesi Micho Sredojevic alwana kuggya ttiimu eno mu kibinja omulundi ogusoose mu byafaayo by’empaka zino.

Micho ali ku ssaala kuba okutuukiriza kino, alina kusabirira Zambia emukubire Mali. Cranes, eri mu kyakusatu n’akabonero kamu ke yafuna ku Mali sso nga Zimbabwe terinaayo.

Cranes okuba n’omukisa okuyitawo yeetaaga kuwangula kwokka. Micho ekimuwa amaanyi kwe kussuuka kwa kapiteeni wa ttiimu, Farouk Miya ataazannya gwa Zambia olw’obuvune mu kibegabega.

Okwewala kino, Micho yategeezezza nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga bawangula omupiira guno batuukirize ekigendererwa kyabwe eky’okutuusa ttiiimu eno ku luzannya lwa ‘quarter’. Micho yayongeddeko nti wadde Zimbabwe ebadde tennakola bulungi kyokka tebagenda kuginyooma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...