TOP

Abavuzi 42 battunka mu mpaka z’e Mbarara

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2016

Mu basinze okwesungibwa abawagizi mwe muli ne Posiano Lwakataka, amaze emyaka ebiri ng’aleppuka n’emisango okutuusa lwe yejjeerezeddwa n’ayimbulwa nga tewali bujulizi.

Yawa 703x422

Lato Mbarara Rally

Leero (Lwamukaaga), za mwetooloolo:

Pine Ridge e Bwala - Masaka

Enkya (Ssande), za kafubutuko: Mbarara

ABAVUZI 42 basuze beeswanta n’okuwera nga bwe bagenda okuliisa bannaabwe enfuufu mu mpaka z’emmotoka eza NRC ezigguddewo kalenda y’omwaka guno (2016).

Mu basinze okwesungibwa abawagizi mwe muli ne Posiano Lwakataka, amaze emyaka ebiri ng’aleppuka n’emisango okutuusa lwe yejjeerezeddwa n’ayimbulwa nga tewali bujulizi.

Lwakataka yagambye nti akomyewo kufulula banne ababadde beeyita bakirimaanyi mu bbanga ly’atabaddeewo.

“Ntya Arthur Blick yekka kuba alina ekitone ekyenjawulo naye abalala temuli!” Lwakataka bwe yategeezezza Bukedde ku Lwokuna ng’awawula ekyuma kye (Subaru N8) mw’atadde ne yingini empya.

Mu balala abagenda okuttunka mwe muli; Arthur Blick (kyampiyoni w’empaka eziri ku kalenda ya NRC omwaka oguwedde), Desh Kananura, Musa Kabega, Ronald Sebuguzi, Nasser Mutebi, Duncan Mubiru ‘Kikankane’ (eyawangula ez’e Mbarara omwaka oguwedde), Leila Mayanja, Adam Rauf Essa, Kuku Ranjit, Edison Mungyereza, Ismail Ortega, Fred Wampamba, Wilbert Pole Pole, Christakis Fitidis, Geoffrey Nsamba ssaako Jas Mangat (akomyewo okuvugira mu Uganda) n’abalala.

Empaka zino za kkirommita 444.4. Leero ku Lwomukaaga zisookera Bwala, Masaka ku Pine Ridge (ez’omwetooloolo) ate ez’akafubutuko enkya za kuyindira mu bitundu by’e Mbarara.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi...

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti