TOP

Lukanga etutte ebikopo 2 n’eyombesa abategesi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd February 2016

Lukanga etutte ebikopo 2 n’eyombesa abategesi

Bik2 703x422

Sula Segawa owa KBC (ku ddyo) ng’attunka ne Wasswa Ssali owa Lukanga.

WADDE nga baasitukidde mu bikopo bibiri ku bisatu eby’empaka za ‘National Open Boxing Championship’ ezaakomekerezeddwa ku Ssande e Lugogo, tekyalobedde ttiimu ya Lukanga Boxing Club kulangira ekibiina ekiddukanya ebikonde (UBF) okubabba.

Lukanga yatutte eky’abato (Juniors) ne bakafulu (Elite) wabula olw’okulemagana ne COBAP mu bavubuka (youths) ku bubonero 24 abategesi ekikopo bakiwadde COBAP.

Wano we waavudde okukaayana era omutendesi wa Lukanga, Zebra Ssenyange yalangidde abategesi nti, “Twabazuula dda nti temutwagaliza, mu bikonde mubeeramu okusibagana?

Bwe tuba tulemaganye lwaki ekikopo temukyesigalizza?” Omwaka oguwedde aba Lukanga baazira empaka z’ebikonde zonna UBF ze yategeka nti bagisaliriza.

Omwogezi wa UBF, Fred Kavuma yagambye nti kyannaku olw’abakulembeze abandiyambye ebikonde okudda ku maapu ate okudda mu kuwa eggwanga ekifaananyi ekikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima