TOP

Vipers etutte Nsimbe

By Hussein Bukenya

Added 5th February 2016

Nsimbe, nga kati atendeka Saints, yawangulira KCCA ebikopo bisatu era eggulo lwe yabadde alina okumaliriza emisoso gyonna okwegatta ku Vipers, bakyampiyoni ba liigi sizoni ewedde.

Nsimbe1 703x422

Nsimbe

Nga February 12: Mu CAF Champions League Vipers - Enyimba (Nigeria) KAWEEFUBE wa Vipers FC ow’okukola obulungi mu mpaka z’Afrika, emutandiseeko na kwagala kukansa omutendesi George ‘Best’ Nsimbe eyali owa KCCA FC.

Nsimbe, nga kati atendeka Saints, yawangulira KCCA ebikopo bisatu era eggulo lwe yabadde alina okumaliriza emisoso gyonna okwegatta ku Vipers, bakyampiyoni ba liigi sizoni ewedde.

Nga February 12, Vipers ettunka ne Enyimba e Nakivubo mu CAF Champions League, ng’eno y’emu ku nsonga ewalirizza Vipers okukansa Nsimbe.

Wadde abakungu ba Vipers baagaanyi okubaako kye boogera ku nsonga eno, ensonda ezeesigika mu ttiimu eno zaategeezezza nti bali mu nteeseganya ezisembayo ng’ekikyabasibye bwe bukadde 40, Saints ze yabasabye okugula ebbanga eribadde lisigadde ku ndagaano ye.

Akulira emirimu mu Saints, Pius Bamwange yakakasizza nga Vipers bw’eyagala okutwala Nsimbe nti kyokka ekyalina okusasula obukadde 40 obugya mu bbanga ly’emyezi omunaana, eribadde libula ku ndagaano ye.

“Tetusobola kulemera Nsimbe wabula tulina okukkiriziganya ne Vipers ku ssente ze balina okutuwa ng’engassi,” Bamwange bwe yagambye. Edward Golola y’abadde mu mitambo gya Vipers era ye anadda wa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zanie 220x290

Erinnya Zanie Brown lya bbeeyi...

EYALANZE Zanie Namugenyi (Zanie Brown) okubeera mu kivvulu nga tamutegeezezza amusabye obukadde 50 lwa kumwonoonera...

Wuuno1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Mulimu oluyimba Weasel lw’akubye nga lusiibula Moze Radio kyokka ebigambo ne bikaabya maama w’omugenzi n’abawagizi....

Nrm1 220x290

Tanga Odoi bimwonoonekedde! Aba...

SSENTEBE w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi agudde ku kyokya olw’okujerega Ssaabawandiisi w’ekibiina...

Madiinahislamicsskaterekensangi 220x290

Abaakoze obulungi mu bya S.6 bakyajaganya...

Abayizi ba Mirembe Islamic SS Gangu nga bajaganya olw'obuwanguzi bwebatuuseeko mu bibuuzo bya Ssiniya ey'omukaaga....

Conduct 220x290

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti...

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto,...