TOP

Ethopian Airline edduukiridde aba USPA

By Silvano Kibuuka

Added 7th February 2016

Ethopian Airline edduukiridde aba USPA

Uspa2 703x422

Aba USPA nga bakwasibwa Ticket y'ennyonnyi ya Ethopian Airline

Kkampuni y’ennyonyi eya Ethiopian Airlines etongozza enkolagana ne bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina kya USPA okubasaabazaanga mu ng’endo ze baba bagendako okusaka amawulire g’emizannyo ebweru wa Uganda.

Maneja wa kkamuni eno, Abebe Angess agambye nti ono y’omu ku kaweefube gwe bataddewo okutumbula eggwanga ng’abamawulire basobola okutuuka ebweru wa Uganda ne batuusa ku Bannayuganda amawulire agasoosowadde obutereevu.

Enkola eno bagitandikidde ku kuwa USPA tikiti ssatu nga zaakutwala Pulezidenti w’ekibiina Sabiiti Muwanga, omumyukawe Rita Aliguma wamu n’omuwandiisi Patrick Kanyomozi mu lukiiko lwa bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu nsi yonna ekya AIPS oluenda okutuula mu kibuga Doha ekya Qatar okutandika ku Ssande okutuusa ku Lwokuna nga February 12.

“TEmulina we mujja kulemwa kutuuka kubanga ennyonyi za Ethiopian Airlines zirina ebibuga 90 we zigenda mu nsi yonna n’olwekyo enkolagana eno ejja kuganyulwa nnyo enjuuyi zombi n’eggwanga okutwalira awamu,” maneja Angessa bwe yategeezezza.

Tikiti azikwasizza abakungu ba USPA bano ku kitebe kya kkampuni eno ku Kimathi Avenue. Ye Pulezidenti wa USPA, Sabiiti Muwanga agambye nti obuyambi buno bugenda kuyamba nnyo aba USPA okugaziya emirimu gyebwe n’okukolagana ne bannabwe mu mawanga ag’ebweru.

Olukung’ana lwa AIPS lwa buli mwaka nga ne Uganda ebadde erwetabamu kati emyaka etaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi