TOP

Liigi ya Rugby etuuse w'enyumira

By Silvano Kibuuka

Added 7th February 2016

Liigi ya Rugby etuuse w'enyumira

Rug2 703x422

Abazannyi ba Rugby nga battuunka

Ebivudde mu liigi ya Rugby: Betway Kobs 23 Pirates 08 Rhino 28  Rams 17 Entebbe Mongers 10 Hima Heathens 33 Sailors 64 Impis 00 Oluzannya lwa liigi ya Rugby wakati wakatiwa Betway Kobs ne Pirates kata luleme kuggwa abazannyi bwe beesonye ebikonde ng’ensitaano ekutte wansi ne waggulu okukkakkana nga ddiifiri Davis Anguyo afuumudde Ivan Magomu owa Pirates ne Cyrus Watumu owa Kobs ku kisaawe.

Kobs yawangudde Pirates kububonero 23-08 wakati w’obunkenke obwatuusizza n’abawagizi okwesogga ekisaawe okutaasa abazannyi bano bennyini okwagala okwekuba. Abazannyi ba Pirates bakira bacoomera ddiifiri nti yalidde kwe kukwata aba Kobs ne’ekyatika wabula bwe yabuuziddwa n’anenya abazannyi ab’effujjo abatassa kitibwa mu ddiifiri naddala aba Pirates.

Guno gwabadde ku kisaawe kya Legends okumpi n’eddwaliro lya Naguru era ng’abantu bangi beeyiye ku kisaawe okuno okulaba omupiira guno ogwabadde gwogeddwako nga ogwa kaasammeeme. Mu guno, Davis Kiwalabye owa Kobs ye yalondeddwa ku buzannyi bw’olunaku. Mu gwazzeewo ku kisaawe kino, Rhino yavudde mabega okukuba Rams esingamu abasawo b’e

Mulago ku bubonero 23-17. Gwakyuse abasawo bakulembedde kububonero 14-11. Mu gwazannyiddwa e Ntebe, aba Heathens baajoogedde Mongers ku butaka ne babakuba ku bubonero 33-10. Ate ku kisaawe kya Kyadondo, Stallions yakubye Impis ku bubonero 64-00.

Liigi eddaku ku Lwokutaano ng’abanene, Kobs ne Heathens bakwataganira ku kisaawe kya Legends era omuwanguzi ajja kuba ng’ayerudde emikisa gy’okuwangula ekikopo kya liigi.

Ebivudde mu liigi ya Rugby: Betway Kobs 23 Pirates 08 Rhino 28 Rams 17 Entebbe Mongers 10 Hima Heathens 33 Sailors 64 Impis 00 Oluzannya lwa liigi ya Rugby wakati wakatiwa Betway Kobs ne Pirates kata luleme kuggwa abazannyi bwe beesonye ebikonde ng’ensitaano ekutte wansi ne waggulu okukkakkana nga ddiifiri Davis Anguyo afuumudde Ivan Magomu owa Pirates ne Cyrus Watumu owa Kobs ku kisaawe. Kobs yawangudde Pirates kububonero 23-08 wakati w’obunkenke obwatuusizza n’abawagizi okwesogga ekisaawe okutaasa abazannyi bano bennyini okwagala okwekuba. Abazannyi ba Pirates bakira bacoomera ddiifiri nti yalidde kwe kukwata aba Kobs ne’ekyatika wabula bwe yabuuziddwa n’anenya abazannyi ab’effujjo abatassa kitibwa mu ddiifiri naddala aba Pirates. Guno gwabadde ku kisaawe kya Legends okumpi n’eddwaliro lya Naguru era ng’abantu bangi beeyiye ku kisaawe okuno okulaba omupiira guno ogwabadde gwogeddwako nga ogwa kaasammeeme. Mu guno, Davis Kiwalabye owa Kobs ye yalondeddwa ku buzannyi bw’olunaku. Mu gwazzeewo ku kisaawe kino, Rhino yavudde mabega okukuba Rams esingamu abasawo b’e Mulago ku bubonero 23-17. Gwakyuse abasawo bakulembedde kububonero 14-11. Mu gwazannyiddwa e Ntebe, aba Heathens baajoogedde Mongers ku butaka ne babakuba ku bubonero 33-10. Ate ku kisaawe kya Kyadondo, Stallions yakubye Impis ku bubonero 64-00. Liigi eddaku ku Lwokutaano ng’abanene, Kobs ne Heathens bakwataganira ku kisaawe kya Legends era omuwanguzi ajja kuba ng’ayerudde emikisa gy’okuwangula ekikopo kya liigi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?