TOP

Tulina okuwangula Uganda Cup - Kisala

By Hussein Bukenya

Added 7th February 2016

Tulina okuwangula Uganda Cup - Kisala

Hu2 703x422

Kisala

Ku Ssande mu Uganda Cup:

Sun City - URA e Nyakasinga

St Mary’s - Sadolin e Nabweru

Simba - Kira Young e Kira

Kampala University - JMC e Luwero

Kireka - Bright Stars e Namboole

OMUTENDESI wa URA, Kefa Kisala alabudde abazannyi be nti tebalina kwetwala nga ba kitalo nga battuunka ne Sun City leero (Ssande) mu Uganda Cup e Kasese.

Kisala eyaakawaungula Mapinduzi Cup e Zanzibar, yategeezezza nti Uganda Cup ya njawulo nnyo ku mpaka endala omuntu z’ayinza okunyooma nti nnafu. “Twazannya bulungi mu Mapinduzi kyokka z’omu byalo nga Sun City teziba nnafu era bw’otegendereza, ekukuba.

Tetugenda kuginyooma wadde nga ya Big League,” Kisala bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti omwaka guno baagala kuwangula buli kikopo kye beetabamu nga buli mupiira balina kuguzannya nga fayinolo. URA yawandulwa KCCA mu z’omwaka oguwedde. Mu ngeri y’emu, omupiira wakati wa KCCA FC ne Mbarara Soccer Academy gwazzziddwa ku Lwakubiri nga February 9.

Kino kiddiridde KCCA okuba nga yazannye ne Simba ku Lwokutaano mu gw’olunaku lw’amagye olwa Tarehe Sita. Simba yaguwangulidde ku peneti (4-2) oluvannyuma lw’okulemagana ggoolo 1-1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”