TOP

UCU tematidde She Corporates mu liigi y'abakazi

By Stephen Mayamba

Added 8th February 2016

OKUMEGEBWA She Corporates nga balowooza bagisinze ensumika kirumye aba UCU Lady Cardinals ne bawera nti kabalinde mu gw’okuddingana nga babakyazizza zidde okunywa.

Kazi 703x422

Abazannyi ba UCU ne She Corporates nga battunka ku kisaawe kya Posta e Nakawa. EKIF: STEPHEN MAYAMBA

She Mak. ST 0-1 Ajax Queens

Gafford ladies 1-0 Western United

Olira WFC 0-1 Mutesa Univ.

She Corporates 1-0 UCU lady Cardinals

Eastern Heroes 4 -1 London College

OKUMEGEBWA She Corporates nga balowooza bagisinze ensumika kirumye aba UCU Lady Cardinals ne bawera nti kabalinde mu gw’okuddingana nga babakyazizza zidde okunywa.

She Corporates yasoonye UCU ggoolo mu ddakiika ey’omukaaga eyateebeddwa Jackline Nassali n’egizibira okumala eddakiika 90.

Newankubadde UCU yanyigirizza n’ekola ennumba eziwera zonna, tezaavuddemu kalungi okukakkana nga bwonna obubonero busatu bannyinimu aba She Corporates babusigazza mu mupiira ogwazannyiddwa ku kisaawe kya Posta e Nakawa ku Ssande nga February 7, 2016 mu liigi y'eggwanga ey’omupiira  gw’abakazi eya  FUFA Women Elite League.

Mu mirala, She Mak St. yazzeemu okuvumbeera bwe yakubiddwa Ajax Queens 1-0 mu maka gaabwe e Makerere. Wiikendi ewedde Kawempe Muslim yabakubirawo 4-2.

E Soroti abagenyi aba London College obugenyi bwabakaayidde bannyinimu aba Eastern Heroes bwe  babaguddeko ekiyifuyiifu ne babawuttula ggoolo 4-1.

Yo Muteesa University yafunzizza bannyinimu aba Olira Women FC n'ebakuba 1-0 n'ebakwakkulako obubonero busatu.

E Kyebando, ggoolo ya Anniela Awimana ‘Neymar’ yayambye Gafford Ladies okufuna obuwanguzi obw’okubiri obwomuddiring'anwa nga bameze Western United okuva e Mbarara 1-0.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...