TOP

Vipers nneetegefu okuwangula Champions League - Nsimbe

By Silvano Kibuuka

Added 8th February 2016

Abadde abangula abasambi e Kitende n’abategeeza nti bateekeddwa okwenyumiririzaamu okusobola okulaga Bannayuganda essanyu ku Lwokutaano bwe banaakyaza ttiimu ya Nigeria eyo mu luzannya olusooka olwa Champions League mu kikopo kya Africa ekya ttiimu empanguzi za liigi.

Vipers 703x422

Nsimbe ng'ali n'abazannyi ba Vipers mu kutendekebwa e Kitende. EKIF: SILVANO KIBUUKA

Omutendesi wa Vipers FC omupya, George Nsimbe agabye nti ttiimu ye egenda okukwatagana ne Enyimba eya Nigeria agiwadde amagezi obutatiitiira lwa linnya lya bagenyi kubanga basobola bulungi okugiwangula.

Abadde abangula abasambi e Kitende n’abategeeza nti bateekeddwa okwenyumiririzaamu okusobola okulaga Bannayuganda essanyu ku Lwokutaano bwe banaakyaza ttiimu ya Nigeria eyo mu luzannya olusooka olwa Champions League mu kikopo kya Africa ekya ttiimu empanguzi za liigi.

Agambye nti abasambi baakwesogga enkambi ku Lwokusatu n’Olwokuna nga gwakubeera mu kisaawe e Nakivubo.

“Abasambi bonna balamu okuggyako Ismail Watenda eyalumiziddwa ng’ali mu ttiimu ya Cranes eya CHAN e Rwanda atagenda kusamba mupiira guno,” Nsimbe bwe yategeezezza.

Agambye nti ababangula mu kuteeba ggoolo ate nga bwe bazibira naddala nga bwe basookedde awaka.

Nsimbe agambye nti tagenda kusala ku bazannyi ku mupiira ogw'awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be