TOP

Villa egenze mu nkambi

By Hussein Bukenya

Added 9th February 2016

Villa egenze mu nkambi

Vl2 703x422

Abazannyi ba Villa nga baakamala okutendekebwa eggulo ku Villa Park. Wansi ye mutendesi waabwe Kirya.

Lwakutaano mu za Afrika Vipers - Enyimba e Nakivubo Ebisale: 5,000/- ne 10,000/- Lwamukaaga mu za Afrika Al Karoutum - SC Villa e Sudan Nga beetegekera okukyalira El Khartoum Watanyi mu za CAF Confederations Cup, omutendesi wa Villa, Ibrahim Kirya ttiimu ye yagitutte Njeru ku kisaawe ky’ekiwempe.

Kirya agamba nti olw’okuba ng’e Sudan bagenda kuzannyira ku kiwempe, asazeewo ttiimu agitwale e Njeru etendekerweyo. “Olunaku olumu lutumala okumanyiira ekiwempe kubanga mu bbanga eritali ly’ewala twabadde Rwanda era ne tuzannya egy’omukwano egiwerako ku bisaawe eby’ekiwempe.

Nkakasa abazannyi bange balina obumanyirivu ku kiwempe ate nakyo si kirungi kuzannyirako kumala bbanga ddene kubanga kibaviirako okufuna obuvune,” Kirya bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okutendekebwa okw’oku makya eggulo ku Villa Park e Nsambya.

Okusinziira ku Frank ‘Video’ Anyau, akulira ebyekikugu mu SC Villa, baabadde n’entegeka okuzannyamu ogw’omukwano n’emu ku ttiimu ennene leero kiwe abazannyi baabwe okugezesebwa okusembayo.

Ttiimu esitula Lwakuna okwolekera Sudan mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines. Villa, yasemba okukiika mu mpaka za Afrika mu 2004 bwe yaggyibwamu Bakili Bullets eya Malawi ku mugatte gwa ggoolo 2-1 mu gw’oluzannya lw’okusunsulamu. Bakili Bullets yawangulira omwayo bwe bajja e Kampala, ne balemagana (0-0).

Nsimbe agumizza abawagizi: WADDE nga George Nsimbe yaakamala wiiki emu yokka ku butendesi bwa Vipers, aweze nga bw’egenda okuwangula Enyimba ey’e Nigeria agiwandule mu mpaka za CAF Champions League.

Ku Lwokutaano, Vipers ettunka ne Enyimba mu gw’oluzannya olusooka mu kisaawe e Nakivubo, Nsimbe omupiira gw’agamba nti waakuguwangula akakase abawagizi nti ky’akola akimanyi. Vipers tekiikangako mu mpaka za Afrika okuggyako eza CECAFA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...