TOP

George Nsimbe awadde ttiimu ye obukodyo okuwangula Enyimba

By Silvano Kibuuka

Added 10th February 2016

George Nsimbi awadde ttiimu ye obukodyo okuwangula Enyimba

Vip 703x422

Abazannyi ba Vipers nga bali mu kutendekebwa

Omutendesi wa Vipers FC George Nsimbe agambye abasambi be okukozesa buli kakisa okuteeka omupiira mu katimba buli lwe basemberera entabwe kubanga bateekeddwa okuteeba ggoolo ennyingi awaka ku Lwokutaano bwe banaasamba Enyimba eya Nigeria mu Nakivubo.

Nsimbe okutendeka kwa leero akwongeddemu obukodyo bw’okubangula abasambi omusimula ebisobyo naddala nga batuuse okukumpi n’entabwe era n’ategeeza nti beetaaga ggoolo nnyingi awaka okutangaaza emikisa gy’okuyita ku luzannya olusooka.

Nsimbe ttiimu agitutte Nakivubo okumanyiira ekisaawe n’ategeeza abasambi be nti kino akikoze baleme kwekwasa kubanga ky'ekisaawe ky’eggwanga eky'okubiri ekiriwo. “Nsuubira abasambi ba Nigeria okukolera ebisobyo okumpi n’entabwe era ggoolo ezi tezisaanye kubalema kuteeba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...