TOP

Ttiimu ya New Vision FC ewanduse mu za Uganda Cup

By Stephen Mayamba

Added 14th February 2016

Ggoolo ya Nelson Drani mu ddakiika ey'e 67 ye yawanduddemu New Vision mu mpaka zino ez’omulundi ogwa 41 mu mupiira ogwazannyiddwa e Busia mu Buvanjuba bwa Uganda ku Lwomukaaga.

Mala 703x422

Ttiimu ya New Vision eyawanduse mu mpaka za Uganda Cup oluvannyuma lw'okukubwa Busia Fiheries 1-0 ku luzannya lwa ttiimu 32 e Busia. (STEPHEN MAYAMBA)

Busia Fisheries 1-0 New vision FC  

Lweza  FC1-0 wakiso United  

Bright Stars 6-1 Kyambura Rastors  

Kamuli Park 1-0 Sun City  

Wandegeya 0-2 Soana  

Luweero 0-1 Ndejje University  

TTIIMU y’ekitongelekya Vision Group eya New Vision FC , ttiimu yokka etalina liigi yonna mw'ezannyira ebadde ekyasigadde mu mpaka za Uganda Cup ekubiddwa Busia Fisheries n'ewandukira ku luzannya lwa ttiimu 32.  

Ggoolo ya Nelson Drani mu ddakiika ey'e 67 ye yawanduddemu New Vision mu mpaka zino ez’omulundi ogwa 41 mu mupiira ogwazannyiddwa e Busia mu Buvanjuba bwa Uganda ku Lwomukaaga.

Okutuuka ku luzannya luno, New Vision yawandulamu Friends Of Soccer ey’ e Fort Portal gye yalumba omwayo n'egikubirayo ggoolo 1-0.  

Mu mirala egyazannyiddwa, e Wankulukuku Lweza FC yaggyeemu Wakiso United bwe yagikubye ggoolo 1-0 eyateebeddwa Moses Ndawula mu ddakiika ey'e 80.  

E Mwererwe bannyinimu aba Bright Stars FC baagudde ekiyiifuyiifu ku Kyambura Rastors FC okuva e Bushenyi ne bagikomerera ggoolo 6-1. Baker Lukooya ne Joshua Kawaddwa bateebye bbiri buli omu endala ne ziteebwa Banga Faruku ne Jimmy Kakooza.  

Ogwa Express FC eyabadde ekyalidde Airtel FC mu Bugwanjuba bwa Uganda tegwawedde oluvannyuma lw'abawagizi okusiiwuuka empisa ne balwanagana mu kitundu eky’okubiri nga buli ludda terunnateeba.

Akakiiko ka FUFA akategeka empaka kalinze lipoota ya ddifiiri kasinziire okwo okusalawo ki ekiddako ku mupiira ogwo.  

Obululu bwa lawundi eya ttiimu 16 n’oluzannya lwa ‘quarter’ fayinolo bwakukwatibwa ku Lwokusatu nga Feberuary 17, 2016 e Mengo ku kitebe kya FUFA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...