TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Golola azzeemu okujooga Tugume: Akumubye ne yeeyama okumutendeka afune obukugu

Golola azzeemu okujooga Tugume: Akumubye ne yeeyama okumutendeka afune obukugu

By Silvano Kibuuka

Added 15th February 2016

Bwe badding’anye ekiro ekikeesezza olwaleero mu Lugogo Indoor MTN Arena, Golola awangulidde ku bubonero nga bamazeeyo enkontana zonna omusanvu ze bazannye ng’awangulidde ku bunonero 201 – 195.

Golola1 703x422

Enguumi za Golola zaatuuzizza Tugume. Ekif: Silvano Kibuuka

Olulwana lw’ensambaggere olwa Valentine Main Kickboxing Fight:

Moses Golola 201  Titus Tugume 195 (Low Kick Style)

Under Cards:

Sharif Bukenya ‘General’ akubye Rocky Dento K.O 4th round

Amateur Fights:

George Wandera akubye Mayanja Bwanika TKO 3rd round

Ivan Ojok akubye Abass Segujja 3-0

Joshua Lamumya akubye Vincent Mayaja TKO 2nd rnd

Michael Ngabo akubye Patrick Kasule 3-0

Musisi Sentamu akubye Yuda Makubuya 3-0

Mark Kiyingi akubye Mohammed Lukwago 3-0

Ivan Koreta akubye Yuven Ongema 3-0.

Moses Golola kati atambula agaziwa oluvannyuma lw’okukuba Titus Tugume abadde amwewerera okuva mu 2013 lwe yamukubira ku Freedom City ekikonde tonziriranga mu sikonda 30 zokka mu lukontana olusooka.

Bwe badding’anye ekiro ekikeesezza olwaleero mu Lugogo Indoor MTN Arena, Golola awangulidde ku bubonero nga bamazeeyo enkontana zonna omusanvu ze bazannye ng’awangulidde ku bunonero 201 – 195.

Wabula okuzannya kususse mu kuzannya ne kufuuka olutalo olunene olutuusizza ne lingi mwe mazannyira okumenyaka ne bamala eddakiika 10 ng’ekyaddaabirizibwa.

Tugume wabula bagudde mu buli lukontana oluviira ddala ku lwasoose nga ne ddiifiri yatuuse okumalira mu lukontana olwokubiri bwe yagudde nga Golola amusonye eng'uumi ez’okumukumu.

Abawagizi ba Golola baajaganyizza nga musajja waabwe atwala omusipi gwa Betway ogwa East and Central Africa n’asuubiza nti agenda kuyamba ku Tugume okutumbula ekitone kye kubanga aliko w’atuuse.

“Tugume afubye okulinnyisa omutindo era nnabadde ndowooza nti agenda kugwa mangu nga luli naye agenda aguma. Kati mulimu gwange okumuyigiriza ensambaggere okwongera ekitone kye mu maaso,”Golola bwe yalangiridde nga yaakayambazibwa omusipi e Lugogo.

Tugume ye ku luno teyasabye kidding’ana wabula okwemulugunya nti Golola abadde azannya bubi wadde nga bombi babadde bayoolagana ekigwo Ekiganda olutata.

Wabula bwe baabadde tebannazannya, omuzannyi w’ensambaggere abadde akulira kiraabu ya University of Pain, Musa Batantu yalangiridde nti omuwanguzi wakati wa Tugume ne Golola amwetaaga naye alage nti seggwanga mu Uganda.

Olulwana lwa Golola lwakulembeddwa ennwana mukaaga ez’abayiga abeesabika emitwe n’olwa pulofesono lumu wakati wa sharif Bukenya eyakubye Rocky Dento K.O mu lukontana olwokuna.

Olulwana luno lwategekeddwa Suudi Entertainment nga lwasasuliddwa aba Betway Uganda, Samona Products, Riham, Rock Boom, Graceland Hotel, Kampala University n’ebitongole ebirala.

Kati Golola awezezza ennwana 29 nga luno lwabadde lwa 23 ng'awangula. Ye Tugume awezezza enwana 9 kw’awangudde musanvu nga ebbiri zombi Golola y’amukubye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hab2 220x290

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo...

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Kib2 220x290

Akulira ensonga z'amaka e Matugga...

Akulira ensonga z'amaka e Matugga yennyamidde olw'obutabanguko mu maka

Kas1 220x290

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde...

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Ko1 220x290

Leero kkooti lw'esalawo oba abali...

Leero kkooti lw'esalawo oba abali ku gw'okutta Suzan Magara basindikibwa mu kkooti enkulu

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.