TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Mulindwa awadde Express obukadde 10 n’agifalaasira okutwala liigi

Mulindwa awadde Express obukadde 10 n’agifalaasira okutwala liigi

By Hussein Bukenya

Added 28th April 2016

ABAWAGIZI ba Express FC abaasoose kukuba obukuukuulu n’okwagala okugoba Lawrence Mulindwa (owa Vipers FC) ku kisaawe kyabwe e Wankulukuku, baamalirizza bamutenda kisa olw’okunaaza ku bazannyi baabwe amaziga.

Villa 703x422

Mulindwa ng’ayogera eri abazannyi ba Express

ABAWAGIZI ba Express FC abaasoose kukuba obukuukuulu n’okwagala okugoba Lawrence Mulindwa (owa Vipers FC) ku kisaawe kyabwe e Wankulukuku, baamalirizza bamutenda kisa olw’okunaaza ku bazannyi baabwe amaziga.

Eggulo, Mulindwa yakyadde e Wankulukuku era abamu ku bawagizi baasoose kwogera butonotono nga beebuuza ekimututte nga ttiimu evuganya bubi nnyo ne Express yaabwe ku kikopo kya liigi ate nga tebanneekwata!

Nga bakyatolotooma, Mulindwa kwe kubeeyanjulira nga bw’ali omuwagizi wa Expres lukulwe nti era ekyabadde kimututteyo si kubega ttiimu yaabwe wabula kugiwagira na kugiyambako okulaba ng’esitukira mu liigi ya sizoni eno.

Baabadde bakyewuunaganya, Mulindwa kwe kukwata mu nsawo n’asikayo obukadde 10 n’abukwasa ssentebe wa Express, Francis Ntalazi ate baabadde bakyewuunya omutima omugabi gw’alina, kwe kubalaga ekisawo ky’emijoozi n’emipiira gye yabadde abaleetedde. Abaasoose okumwekengera bonna ate kwe kukyuka ne bamuwa engalo. “Nzize wano ng’omuwagizi wa Express gye natandika okuwagira nga nkyasoma.

Mu Vipers ndi mukozi bukozi kyokka yo Express endi ku mutima era bwe bagikuba mpulira bubi, ekikopo ky’omwaka guno nkyagaliza Express era mulina obusobozi obukiwangula,” Mulindwa bwe yategeezezza.

Bwe yabuuziddwa lwaki Express agiyambidde mu kaseera nga tennazannya Vipers mu liigi yagambye nti, “Bulijjo ngiyamba era n’abakungu baayo bakimanyi naye era nkikola ng’omuwagizi atayagala ttiimu ye ejule,” Mulindwa bwe yategeezezza n’agamba nti, “Express ne bw’ekuba Vipers sikirinaako buzibu kuba nsigala nfunye essanyu lya wiini.”

Yasabye abazannyi n’abatendesi okuwangula Villa ne KCCA bagiggye ku kikopo kya sizoni eno. KCCA FC ekulembedde liigi n’obubonero 51 mu mipiira 26 ate Villa eri mu kya 11 ng’erina obubonero 33 mu mipiira 20, Express eri mu kyakusatu ku bubonero 45 mu mipiira 25 ate nga Vipers eri mu kyakubiri ku bubonero 45 mu mipiira 24. “Mbawadde emijoozi kuba bakyampiyoni balina okulabika obulungi ku kisaawe,” Mulindwabwe yagasseeko ng’ayagaliza Express ekikopo. Yeebazizza Ntalazi n’abakulembeze ba Express olw’okusitula ttiimu wadde ng’embeera y’ebyensimbi gye balimu teyeeyagaza.

KCCA FC EZANNYA VIPERS MU UGANDA CUP

Mulindwa yabadde afalaasira Express okuwangula liigi agiremese KCCA, ng’eri akalulu ka semi za Uganda Cup ate kasuula ttiimu ye eya Vipers ku KCCA FC. George Nsimbe, atendeka Vipers, yava mu KCCA gye yawangulira ekikopo. Mu semi endala, Entebbe FC eyayitawo edda, erindiridde kuzannya Onduparaka, eyasuuzizza SC Villa ekikopo kino, wabula eno (Onduparaka) erina kusooka kuyita ku Busia Fisheries ku luzannya lwa ttiimu 16 nga May 18, ate ayitawo waakuzannya Soana FC ku quarter ng’ayitawo y’ajja okuzannya semi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...

Kabuta2 220x290

‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku...

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya...

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...