TOP

Basajja Mivule awngudde engule

By Silvano Kibuuka

Added 1st May 2016

Basajja Mivule awngudde engule

Ko1 703x422

David Basajjamivule (Ug) akubye Kelly Mbaruka (Tz) K.O 3rd round Undercards: Medi Sebyala Kabona (Ug) akubye Suleman Zugo (Tz) K.O 1st round Rogers Semitala akubye Samuel Baluku K.O 2nd round Remy Yiga akubye Alex Kaye K.O 3rd round Herbert Mugalula akubye Dragon Kidega 238-223 pts Kenneth Kaunda akubye Robert Semboze 178 – 147 Pts

Omuggunzi w’engumi David Basajjamivule teyakomye ku kuwangula musipi gwa zi ssemaziinga ogwa World Boxing Federation International wabula yataddewo n’omutiindo omumpya okujja ebikonde mu Gheto okubitwala mu baloodi nga byalabiddwa Abazungu bangi wamu n’Abadugavu mu woteeri ya Sheraton.

Yeewaanye nti y’asoose okulwanira musipi gw’ensi yonna ng’asinziira ku butaka mu Uganda era nga yaguwangudde ne yeebaza abawagizi n’abamutaddemu ensimbi, kko n’emikutu gya radio ne TV ezeenyigidde mu kutumbula olulwana luno.

 Basajjamuvule yalaze essajja bwe yawangudde Kelly Mbaruka owa Tanzania nga yawanikidde mu kuwummulamu okw’olukontana olwokusatu omusipi n’agwenenya olwa Basajjamivule okumusukkulumako nga baanadde baakulwana enkontana 12.

Yawangudde omusipi gwa World Boxing Federation International gwe yayongedde ku gwa East and Central Africa gwe yawangula mu October omwaka oguwedde ku Hotel Africana bwe yakuba Maldozi owa Zambia ku bubonero.

Wabula Mbaruka ne munne Suleman Zugo eyawanguddwa Medi Sebyala beekwasizza nti tebaalisiddwa bulungi kwe kuwangulwa. Abalala abaawangudde ye Medi Sebyala, rogers Semitala, Kenneth Kaunda ne Remy Yiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...