TOP

UgandaKCCA ne Vipers ziwadde Villa enkizo ku liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2016

UgandaKCCA ne Vipers ziwadde Villa enkizo ku liigi

Ka1 703x422

KCCA 0-0 Vipers AZAM Uganda Premier League yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lwa KCCA FC ne Vipers okulemagana (0-0) e Nakivubo ku Lwokutaano.

Ensiike yaabwe yabadde etunuuliddwa nti y'esalawo anaawangula ekikopo kyokka okubulako amegga munne kyawadde Express ne SC Villa ekyanya ky'okwegatta mu nsiitaano y'ekikopo. KCCA eri ku ntikko n'obubonero 52 mu mipiira 27 sso nga Vipers yaakubiri ku 46 mu mipiira 25

Singa Vipers ewangula emipiira ebiri KCCA gy'egisinza, baakwenkanya obubonero olwo asinza omugatte gwa ggoolo y'anaaba n'enkizo.

Amaliri ga ttiimu zino gaaleese Express ne Villa mu kibalo ky'ekikopo nga na zino singa ziwangula emipiira gye zisigazza, zifuuka kyampiyoni.

Express erina obubonero 45 mu mipiira 26 nga singa eba yakubye Bright Stars eggulo (Lwamukaaga) n'emirala esatu omuli KCCA, Villa ne Vipers, ejja kumalira ku bubonero 59 nga tewaba ayinza kubuweza kub abeera abakubye. Villa nayo wadde ekyali wansi olw'emipiira emitono gye yaakazannya, bw'ewangula emipiira gyonna 9 gy'ebuzaayo etwala ekikopo.

Erina obubonero 36 mu mipiira 21 nga singa yakubye BIDCO eggulo (Lwamukaaga) n'endala omuli KCCA ne Express, yaakumalako n'obubonero 63 nga tewaba ayinza kugikwata ku bonna abavuganya ku kikopo. Kino kitegeeza nti ensiike wakati wa ttiimu zino (KCCA, Villa, Express ne Vipers) zigenda kusalawo kinene kyampiyoni wa liigi.

WADRI AYIYEEYO VIPERS Singa Vipers esubwa ekikopo kino, abazannyi n'abatendesi baakukissa ku William Wadri eyabasubizza obuwanguzi ku KCCA. Ono yafunye omupiira n'asonga abazibizi, Ssaka Mpiima ne Ayiko kyokka mu kwagala okukuba omupiira mu nsonda eya waggulu mu ggoolo ya KCCA, yagukubye mu bire. Kino kyayogezza abamu ku bawagizi mu kusaaga nti "Omubiri gwavaayo naye omutima gwasigalayo". Wadri yali mu KCCA sizoni ewedde naye Mike Mutebi bwe yalya obutendesi n'amusalako.

Ku nzannya eyalagiddwa mu kisaawe, ttiimu zombi zaalemye okucamula abawagizi abangiko abaabadde e Nakivubo kuba amaanyi zaagatadde mu kuggumiza kisenge na kitongole kiwuwuttanyi ne okuyiiyiza abateebi bakubenga emipiira eri abakwasi ba ggoolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afuddebulengabyjmutebi103945 220x290

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala...

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...