TOP

Express ne Villa ziwaga mu liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Express ne Villa ziwaga mu liigi

Vi1 703x422

Joshua Kawadwa owa Bright Stars (mu maaso) ne Isaac Mutaawe owa Express FC ku Lwomukaaga. Express yawangudde (2-1).

Express 2-1 Bright Stars Bul 0-2 Villa Saints 2-1 JMC OLUTALO lw'okulwanira ekikopo kya Azam Premier League lweyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lwa Express okuwangula Bright stars (2- 1) ne yeesogga ekyokubiri.

Kati ttiimu 4 okuli; KCCA, Vipers, Express ne Villa ze zirwanira ekikopo kya Azam Premier League sizoni eno, ekintu ekyongeddemu ebbugumu.

EMBEERA ENO EZZE ETYA?

KCCA FC, eyali ekulembedde liigi ng'esinza Vipers, eyali mu kyokubiri obubonero 12, yatandise okuvumbeera ng'ebuzaayo emipiira 3 gyokka okumalako sizoni (Simba1-0 KCCA, KCCA 1-2 Saints ne KCCA 0-0 Vipers).

Wabula Express,Vipers ne Villa, bwe bavuganya ku kikopo, zongera kulinnyisa mutindo ate nga zikyabanjaayo emipiira egisukka mu 3 buli emu. KCCA yaakazannya emipiira 27 mw'ekuhhaanyirizza obubonero 52, ekiwadde Express amaanyi okutandika okugissaako akazito ng'egamba nti singa ewangula omupiira gw'ebbanja, basibagana enkalu ne balinda kibalo okulondako anaatwala ekikopo.

Wabula ne Vipers eri mu kyokusatu (46) mu mipiira 25 tetudde, nga nayo yeesize mipiira ebiri gy'ebanja, era egamba nti bw'egiwangula n'egisigaddeyo esatu okumalako sizoni, ejja kulinnya waggulu wa KCCA ne Express, singa zisuula Villa nayo wadde eri mu kya 10, yeesize mipiira 6 gy'ekyabanja ku egyo 9 gy'ebuzaayo era yeewaana nti erina obusobozi obugiwangula gyonna n'eweza obubonero 63 n'esitukira mu kikopo.

Singa embeera etambulira awo, omuwanguzi, okufaananako n'owa sizoni ewedde, asobola okusalwawo ku mupiira ogusembayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai