TOP

Lwakataka akomyewo okuvuganya n'abanene e Masaka

By Silvano Kibuuka

Added 3rd May 2016

Lwakataka akomyewo okuvuganya n'abanene e Masaka

Ma1 703x422

Omuvuzi wa mmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka agambye nti anoonya kuddamu kuzimba linnya mu muzannyo guno ng’awangula empaka za Action Road Safety Masaka Rally ezitegekeddwa aba kiraabu ye eya Southren Motor Club.

Y’akyasinze okuwangula empaka zino ng’asitukidde mu kikopo emyaka 7 wabula ng’emyaka ebiri tavuze ng’ali mu kkomera.

“Olufunye abavujjirizi okutandika ne Emmanuel Lwasa owa Lwasa Gardens e Masaka nkomyewo okuvuganya engule y’eggwanga.

Nga bulijjo, njagala okukozesa mmotoka yange enkadde Subaru N8 okuwangula mmotoka ennene ze baakazaako ‘Ebisodde’ nga mwe ntwalidde n’abantekamu ensimbi bavuzi bannange okuli Desh Kananula n’abalala.

Ayongeddeko nti sseddume w’ente essiddwawo Lwasa agenda kugirya,” Lwakataka bw’ategeezezza mu kutongoza empaka zino e Lugogo ku kitebe kya NCS.

Agenda kusindana ne Jas Mangat ku ngule y’eggwanga ng’ono naye akomyewo okuva e Kenya gy’avugidde emyaka ebiri.

Mangat ye yawangula ku buvizi bwa mmotoka mu ggwanga mu 2013. Lwasa omuvujjirizi omukulu mu mpaka zino agambye nti mu by’ataddemu ebimazeewo obukadde 15 mwe muli okuwa Lwakatala obukadde 6, okusuza abavuzi , okugula obukooti bw’abategesi (reflector Jackets), sseddume w’ente n’ebirala.

Asasulidde n’abavuzi okuva mu Masaka okuli Hamza Kakande ne Mansoor Lubega owa Kyabakuza Rally Team.

Mmotoka zaakusooka okwekebejjebwa ku Gaz Petro Station ku Lwokutaano zigende butereevu mu z’akafubutuko mu Pine Ridge.

Pulezidenti wa Southern Motor Club, Raymond Kiyingi agambye nti nga gwe mulundi ogusoose bataddewo mmotoka ez’ekiro  nga zino zaakubumbujja Lwamukaaga nga za kiromita 5.5 okuva e Kaddugala okutuuka mu Kiyembe zidde e Kasana okutuuka e Kidda ku lugendo olwa kiromita 25.

Ku Ssande zaakugenda e Rakai okuvuganya mu nvuga 10 era zidde ku Lwasa Gardens abawanguzi okugabirwa ebirabo. Lwasa ataddewo ne sseddume w’Ente nga lwakataka asuubizza okugisitukiramu agabule abawagizi be. Luno luvuga lwakusatu ku kkalenda y’eggwanga ey’empaka za mmotoka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba