TOP

Vipers ekubye Express n’erengera ekikopo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2016

Vipers ekubye Express n’erengera ekikopo

Vi1 703x422

Aggrey Madoi (ku kkono) owa Vipers ng’attunka ne Musa Mukasa owa Express eggulo. Vipers yagobye 1-0.

Vipers 1-0 Express

SC Villa 0-2 Saints

Sadolin 0-0 URA

ABAZANNYI ba Express baalemeddeko okumala eddakiika 86 kyokka ng’ebula ssatu zokka baasumagidde Vipers n’ebateeba olwo ne babakuba olube nti, “Ssente ky’eremwa ow’enkata tazinga.” Vipers FC ey’omugagga Lawrence Mulindwa, ye yabawangudde eggulo (1-0) mu mupiira gwa liigi ya babinywera ogwazannyiddwa e Buikwe.

Abawagizi okujuliza olugero lwa ‘Ssente ky’eremwa...!”, kyaddiridde aba Express okuwaga nti wadde wiiki ewedde Mulindwa yabawadde obukadde 10, emijoozi n’engatto, baabadde bagenda kufiira ku ttiimu ye bagimegge kubanga bo bakolerera kikopo.

Sadam Juma ye yateebye ggoolo oluvannyuma lwa Erisa Sekisambu, eyaliko mu Express okusindirira ennyanda eya wansi, n’erema Ali Kiggundu mu miti okunyweza ng’ebula eddakiika ssatu omupiira guggwe.

Essanyu eringi erya ggoolo eno lyaweesezza Saddam kaadi eya kyenvu okuva ewa ddiifiri Ali Sabira olw’okugyaguza ng’aggyamu essaati kyokka kino ye ne Vipers yonna kyabalumye kitono olwa ggoolo eno eyabatangaalizza emikisa gy’ekikopo.

Baggye Express mu kyokubiri nga baawezezza obubonero 49 mu mipiira 26 era singa bawangula ogumu KCCA FC gw’ebasinza, baakwenkanya obubonero (52).

Vipers yafunye essanyu lya nnabansasaana kubanga SC Villa, bwe bali mu lwokaano lw’ekikopo, baagitunulizza ebikalu e Nakivubo. Saints FC, erwana okusigala mu Azam Premier League, ye yakubye Villa (2-0) n’emenyawo ne likodi ya Ibrahim Kirya ey’obutakubwa mu liigi bukya asikira Muzungu Antonio Flores ku butendesi obujjuvu. Express yasigadde ku bubonero 48 mu mipiira 27 sso nga Villa erina 36 mu mipiira 22.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...