TOP

Mubeere beerufu mu z’Amasaza - Katikkiro

By Dickson Kulumba

Added 4th May 2016

Mubeere beerufu mu z’Amasaza - Katikkiro

Mas1 703x422

Katikkiro (ku kkono) ng’ateeka omukolo ku gumu ku mipiira egigenda okukozesebwa mu kuggulawo empaka z’Amasaza.

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye baddiifiri abagenda okulamula emipiira gy’Amasaza okuba abeerufu n’okulinnyisa omutindo nga balamula empaka zino.

Bino Mayiga yabyogedde ggulo ku mukolo kwe yatongolezza empaka z’Amasaza ez’omwaka guno ku Bulange e Mmengo. “Empaka z’emipiira gy’Amasaza ziri ku mutendera gwa waggulu kuba gibeerayo buli kaseera ate n’egyettanirwa abantu bangi.

Kino kitegeeza nti omuntu bw’azikozesa obulungi kimwanguyira okweyongerayo ku ddaala eddala. Ku mulundi guno, buli muntu alina okubeera omwerufu mu buli ky’akola okusobola okuzissa ku ntikko,” Mayega bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti omukulu w’Essaza y’alina obuvunaanyizibwa ku ttiimu era abaddukannya ttiimu bwe bafuna obutakkanya gwe balina okutuukira. Mu ngeri y’emu, Katikkiro yasabye abawagizi okulaga empisa nga bawagira okusobola okukuma omulamwa gw’okunyweza enkolagana mu bantu ba Ssaabasajja.

Empaka z’omwaka guno zaakuggyibwako akawuuwo ku Lwomukaaga e Bakkijulura - Lyantonde n’omupiira wakati wa Kabula ne Buddu era nga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye okuziggulawo.

BUDDU EYIGGA OBUKADDE

250 Nga Bannabuddu bakyali mu nnaku y’okukubwa Ssingo ku fayinolo Y’omwaka oguwedde (5-0), bali mu kattu ka kunoonya obukadde 250 obunaayimirizaawo ttiimu mu z’omwaka guno. Pookino Vincent Mayiga bwe yabadde alangirira olukiiko olugenda okunoonyeza ttiimu eno ssente mu Kampala, yategeezezza wadde be baaggulawo empaka z’omwaka guno, okuddukanya ttiimu beetaaga obukadde 250.

Akakiiko akanoonyeza Buddu ensimbi kaliko; Omulangira Vincent Kayemba Kukumba, John Baliruno ne Edward Nakibinge era Bannabuddu baasabiddwa okuvaayo okudduukirira ttiimu yaabwe. KABULA EWERA E Kabula, Lumaama Francis Ntambaazi Mugumya, yategeezezza nga ttiimu ye bw’eri enneetegefu okutunka ne Buddu.

“Abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi okuwangula ensisinkano eno, era nga tulindilidde lunaku na ssaawa Kabaka wanaggyirako empaka zino akawuuwo.” Ntambaazi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...