TOP

KCCA yeekengedde emipiira gya sindikeeti n’eraajanira FUF

By Hussein Bukenya

Added 5th May 2016

Villa ekyabuzaayo emipiira musanvu nga kuliko n’ogwa KCCA, nga wadde tekyasobola kuwangula kikopo wadde egiwangudde gyonna (yakubiddwa Saints 2-0), KCCA etya nti ekyasobola okuzannya sindikeeti ebalemese ekikopo kuba bali kabwa na ngo. Villa eri ku mipiira 22 n’obubonero 36.

Sindikeeti 703x422

Godfrey Lwasibawa owa Villa (ku kkono) ng’ayita ku Ronald Musana owa Saints e Nakivubo ku Lwokubiri. Saints yawangudde (2-0).

 

Lwakutaano mu liigi

SC Villa - KCCA, e Nakivubo KCCA FC yeekengedde okubazannya sindikeeti, n'esaba FUFA eyimirize emipiira gyayo okutuusa nga ttiimu endala ze bavuganya nazo ku kikopo ziwezezza emipiira 27 nga nabo gye balina.

Leero ku Lwokutaano KCCA ekyalira Villa e Nakivubo, kyokka abakungu baayo (KCCA) bagamba nti si kyabwenkanya kuzannya mupiira ogwa 28 nga be bavuganya nabo bakyabuzaayo emipiira mingi ekiyinza okuviirako ttiimu ezimu okugabira zinnaazo obubonero mu ngeri y’okuzannya sindikeeti. Villa ezannya gwa 23.

Akulira emirimu mu KCCA, David Tamale yategeezezza nti FUFA erina okuyimiriza emipiira gyabwe okutandika ku Lwakutaano kiremese ttiimu okwetaba mu kuyambako endala okufuna obubonero obw’oku mukeeka.

“ Tusabye FUFA etuyambe eggyeewo emipiira kuba tosobola kumalayo mipiira nga ttiimu gy’ovuganya nayo ekyalinayo mingi bwe gityo. Kyangu ttiimu ezitakyalina kigendererwa okwegabula kuba ziba tezirina kye zifiirwa,” Tamale bwe yategeezezza.

Akulira okutegeka empaka za FUFA, Ali Mwebe agambye nti ebbaluwa ya KCCA yagifunye ku Lwokubiri, ng’essaawa yonna bagenda kutuula balabe eky'okukola.

KCCA y’ekulembedde liigi n’obubonero 52 mu mipiira 27 nga bw’ezannyaleero ku Lwakutaano kitegeeza esigazaayo Express ne Sadolin emaleyo nga bw’egiwangula ebeera n’obubonero 61.

Villa ekyabuzaayo emipiira musanvu nga kuliko n’ogwa KCCA, nga wadde tekyasobola kuwangula kikopo wadde egiwangudde gyonna (yakubiddwa Saints 2-0), KCCA etya nti ekyasobola okuzannya sindikeeti ebalemese ekikopo kuba bali kabwa na ngo. Villa eri ku mipiira 22 n’obubonero 36.

Vipers eri mu kyakubiri ku bubonero 49 ng’ekyabuzaayo emipiira 4 nga bw'egiwangula gyonna benkanya obubonero (61) ne KCCA.  Bernard Bainaman akulira liigi ya Azam Uganda Premier League, yategeezezza nti ebbaluwa KCCA gy’egamba yagiwandiikidde FUFA ng’ate si y'eddukanya liigi.  

“KCCA ekimanyi nti ffe tuddukanya liigi kyokka nawuliddeko nti ebbaluwa esaba okuyimiriza omupiira ate baagiwandiikidde FUFA,” Bainaman bwe yagambye n’agattako nti ye akyali ku nteekateeka y'okulaba ng'omupiira gw'enkya guzannyibwa.” Bainaman era yakikkaatirizza nti buli ttiimu erina okuzannya emipiira nga bwe gyategekebwa.

Kyokka KCCA egamba nti okuwandiikira FUFA teyabadde nsobi kuba abaddukanya liigi baliwo ku lwa FUFA era bw'esalawo, aba liigi tebasobola kubajeemera.

 “Bw'owandiikira FUFA ng’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga obeera na musango ki’? Eryo ly’ekkubo ettuufu kuba abaddukanya liigi bali wansi wa FUFA, ate twabawaddeko koppi,” Tamale bwe yategezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”