TOP

Bakyakayiga ba FUFA battattanye omupiira

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Bakyakayiga ba FUFA battattanye omupiira

Ab1 703x422

Abdallah Mubiru

ENKOLA ya FUFA ya matankane ng’ekiwalaata ky’embuzi. Anti kiremererwa okukwata ku mutwe ne kikwata ku maviivi! FUFA ky’ekibiina ekivunaanyizibwa ku kulambika ensonga ezikwata ku mupiira mu ggwanga.

Gye buvuddeko, kwe nnasinzidde okuwabula abategeka empaka z’omupiira gw’amasomero ga siniya nti eby’ekikugu babikwase FUFA, kiyambe abazannyi okutegekebwa ku musingi ogutuukana n’ebisaanyizo by’omutindo gw’ensangi zino.

Emyaka 10 egiyise, zino z’empaka ezisinze okuvumbula abazannyi ba Cranes, ebitundu 95 ku 100. Kyokka tekoze mutindo guwaniridde Cranes kweggyako kikwa kya butazannya mu za Afrika wadde World Cup. Kye nnasuubira nti singa FUFA eweebwa ekyanya okukulira eby’ekikugu mu mpaka zino, kijja kuyambako okuzimba omusingi omutuufu okuzimbirwaako abazannyi abatuukana n’omutindo. Empaka zino zitandika ku Ssande e Soroti.

Kyokka ebyeyolese mu nteegeka y’empaka FUFA zeyeetegekedde eza FUFA U-17 Junior League, ezaakomekerezeddwa ku Lwokusatu ku ssomero lya Kawempe Muslim, bimalamu amaanyi. Nneetabye mu mpaka z'amasomero ng’omutendesi wa Kibuli SS, emyaka 15, kyokka abategesi bamalirivu okuzitambuliza ku mateeka awatali kuttira muntu yenna ku liiso. Bafubye okuzigobamu abatasoma nga kati babakanye na gwa kuzigogolamu abazannyi abakuliridde. Abayizi tebateekeddwa kusukka myaka 20.

Kyokka mu mpaka za FUFA Junior League, sirabyeemu kaweefube akugira bazannyi bakulu. Ebitundu 98 ku 100 abalenzi FUFA be yawa layisinsi, basussa emyaka 20, sso nga za batasussa myaka 17. Eky’okulabirako ekyangu, abalenzi abasinga bamalirizza S6 . Mu kubala okwangu omwana okumaliriza siniya eyoomukaaga abeera awezezza emyaka 19. Ky’ova olaba nga tekyewuunyisa nti ttiimu y’abato eya U20 yawawaabiddwa Rwanda olw’okuzannyisa Ahebwa ng’emyaka tegikwatagana.

Anti mwana mugimu ava ku ngozi. Eky’emyaka ng’okitadde ku bbali, FUFA abakenkufu mu by’ekikugu, baakamaze okuzannyisa abaana emipiira ebiri ku lunaku lw’elumu.

Kino kya bulabe nnyo ku bulamu bw’omuntu era tewali we kikkirizibwa mu by’ekikugu by’omupiira kuba omuzannyi oba omuttidde ddala. Okukikola, kyayanise obunafu mu bategeka empaka mu FUFA, mu kwebuuza ku beekikugu. Olwo kati omupiira gulagawa wa ggwanga?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu