TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Okuzannyisa atakkirizibwa kuzaalidde Uganda ebizibu;bagigobye mu z’abato;

Okuzannyisa atakkirizibwa kuzaalidde Uganda ebizibu;bagigobye mu z’abato;

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Okuzannyisa atakkirizibwa kuzaalidde Uganda ebizibu;bagigobye mu z’abato;

Mu1 703x422

FUFA ng’ekyali ku bya NCS okugiyiwa olw’okulemwa okwewandiisa, ate ttiimu y’eggwanga eyabatasussa myaka 20 (The Hippos) egobeddwa mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja lwa kuzannyisa muzannyi atakkirizibwa mu mateeka.

Rwanda yaloopa Uganda mu CAF (ekibiina ekitwala omupiira mu Afrika) oluvannyuma lw’okugiwandula mu mpaka zino ku mugatte gwa ggoolo 3-2 ng’egamba nti omukwasi wa ggoolo ya Uganda, James Aheebwa ebiwandiiko bye byali tebikwatagana, ekikontana n’amateeka agafuga empaka.

Rwanda egamba nti ebiwandiiko FUFA bye yawaayo mu CAF tebikwatagana ekyoleka nti bijingirire era omuzannyi oyo ayinza okuba ng’asussa emyaka egikkirizibwa mu mpaka.

Vipers, Aheebwa mw’azannyira bwe yali egenda okuzannya Enyimba eya Nigeria mu mpaka za CAF Champions League, ebiwandiiko bye yawaayo byali biraga nti yazaalibwa nga March 27, 1997 ate Uganda bwe yabadde ettunka ne Rwanda, mu paasipooti ye mwabaddemu nti yazaalibwa nga May 19, 1998 ekiraga obutakwatana.

Wadde nga Aheebwa asigala alina emyaka egikkirizibwa, Rwanda yeesibye ku kyabutakwatana ku buzaale bwe. Olupapula lwa New Times olufulumira e Rwanda lwategeezezza nti abakulira omupiira mu Rwanda baafunye ebbaluwa okuva mu CAF ebalagira okutandika okwetegekera Misiri (Uganda gy’ebadde egenda okuzannya) mu gw’oluzannya oluddako.

Guno mulundi gwakubiri nga Uganda bagigoba mu mpaka ku byekuusa ku myaka gy’abazannyi. Mu 2010, CAF yagikaliga emyaka esatu lwa kuzannyisa Ivan Ntege eyali asussa emyaka 17. Baali battunka ne Zambia mu z’Afrika ezabatasussa myaka 17.

Ne ku luno Uganda eyolekedde ekibonerezo bwe kinaazuulibwa nti emyaka gya Aheebwa giri waggulu ku gikkirizibwa mu mpaka. Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti tebannafuna ku bbaluwa yonna kuva mu CAF nti baakaligiddwa era bakyali mu nteekateeka y’okuzannya ne Misiri ku luzannya oluddako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...