TOP

Vipers ewadde KCCA ekikopo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Vipers ewadde KCCA ekikopo

Vi1 703x422

Dan Wagaluka owa Soana (ku kkono) ng'atagaza abazannyi ba SC Villa eyamwola. Baalemaganye ggoolo 3-3 e Nakivubo ku Lwokutaano.

SC Villa 3-3 Soana

Vipers 0-0 Simba

Leero mu liigi:

URA - SC Villa,Lugazi

KCCA yaakuwangula ekikopo ng’ekyabuzaayo omupiira singa ewangula Express ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.

Kino kiddiridde Vipers gy’ettunka nayo okulemwa okuwangula Simba mu mupiira gwe yabadde erina okufunamu obubonero busatu efunza ku bubonero KCCA bw'egisinza. Ku Lwokutaano, Vipers yalemaganye ne Simba erwana obutasalwako (0-0) e Buikwe ekyasannyalazza emikisa gyayo okweddiza ekikopo.

Amaliri gano gaawadde KCCA ya Mike Mutebi ggaapu y’okuwangula ekikopo kye ekisooka mu byafaayo kuba kati ttiimu ye yeetaaga obubonero busatu esitukire mu kikopo.

KCCA ne Vipers kati buli omu alina emipiira 28 kyokka KCCA esinga Vipers obubonero 4 kuba mu kaseera kano erina 55 ate Vipers eri ku 51 ekitegeeza nti singa KCCA ewangulayo omupiira gumu, yaakuweza obubonero 58 nga Vipers ne bw'ewangula emipiira gyayo ebiri okuli Saints ne URA eweza 57.

EMIKISA GYA VIPERS OKU WANGULA

Vipers okuwangula ekikopo kino erina kuwangula mipiira gyayo ate esabirire Express ekube KCCA ate Sadolin egisuule amaliri.

Kitegeeza nti KCCA emalira ku 55 ate Vipers eweza 57. VIPERS Y'EGA BIDDE KCCA EKIKO PO Emirundi esatu nga KCCA esuula obubonero nga ne Vipers esuula. Mu mipiira mukaaga egisembyeyo KCCA ewangudde ebiri gyokka (JMC 2-0 ne SC Villa 1-0) ekyandiwadde Vipers enkizo okugiggya ku ntikko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...