TOP

Abeebikonde bayomba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Abeebikonde bayomba

Bik1 703x422

Gimugu ne Nyakana

EKIBIINA ekitwala ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kizzeemu okwerumaaluma ekivuddeko okwekutulamu ebiwayi bibiri. Entabwe evudde ku bamu ku bakungu okukalira mu pulezidenti waakyo Kenneth Gimugu nga bamulumiriza okutwalira ekibiina mu nkwawa ze ne yezza obuyinza bw’ekibiina bwonna.

Omuyima wa UBF, Godfrey Nyakana ne Ssaabawandiisi waakyo Simon Barigo n’abatendesi ba kiraabu ez’enjawulo gye buvuddeko beevumbye akafubo ku Centenary Park mu Kampala okutema empenda okumalawo emigozoobano egiri mu bakulembeze nga bagamba nti baagala kutwala muzannyo gwa bikonde mu maaso.

Ebiwayi ebiriwo biri bibiri okuli ekya ssaabawandiisi ne pulezidenti Gimugu. Bano baludde nga bagugulana nga Barigo awakanya engeri Gimugu gy’addukanyaamu emirimu okuli okwezza akawunti y'ekibiina ng’ate waliwo omuwanika, okusalawo nga tabuuzizza bakungu banne, okwesamba enkiiko z'ekibiina n’ebirala.

Barigo ky’agamba: UBF si kitongole kya bwannannyini era tusaba pulezidenti akomye okweyingiza mu mirimu gyaffe olw'ensonga nti twalondebwa mu bifo bino nga tugwanidde. Mbeera ntya ssaabawandiisi nga sirina na lukusa okutunula mu biwandiiko bya kibiina! Emirundi mingi asalawo nga tamaze na kutwebuuzaako.

Olonda otya ttiimu y'eggwanga nga totwebuuzizzaako nga ffe tutegeka empaka ezibasunsula mwe tulabira asobola n'atasobola! Gye buvuddeko Gimugu yaggya omuggunzi w'ehhuumi Muzamir Kakande ku ttiimu eyalina okugenda mu kusunsulamu aba Olympics e Cameroon.

Nze najja kukolera bikonde - Gimugu Bukedde bwe yatuukiridde pulezidenti wa UBF, yagambye nti, "Nze sirina ssente yonna gye nfuna mu UBF era n’abagamba nti sirina kye nkoze balina bigendererwa byabwe. Nze nalondebwa kuzza bikonde ku mutindo era ke kalembereza ke tufunyeewo ensangi zino ke saasangawo.

Emirundi mingi nteekamu ssente ezange era mu mbeera eno nafaalasira Kennedy Katende eyali azannyira Sweden ne mmukkirizisa okukomawo azannyire Uganda era kati yayiseemu okugenda mu Olympics.

Nakomyawo Ronald Serugo ku ttiimu ya Bombers, abaayiseemu okwesogga Olympics, gye twali twakoma okukiika mu 2008. Ekiruubirirwa kyange kwe kutereeza mbeera ya muzannyi wa bikonde sso si biruubirirwa bya bannange.

Tulina obuzibu mu bikonde - Nyakana Kituufu tulina obuzibu mu bikonde naddala mu ngeri abakulembeze aba waggulu gye bakolamu emirimu gyabwe. Emirundi mingi wabaddewo okusalawo okubi nga bwe kyabadde mu kulonda abaagenda mu z’okusunsulamu aba Olympics e Cameroon.

Tugenda kukola ekisobooka okuluhhamya ensonga zino kuba tetwagala kudda mu migozoobano gye twalimu mu 2009." Gye buvuddeko, ekibiina ky’ebikonde kyali kifuhhamyemu, emivuyo ekyaviirako ne Uganda okusubwa empaka okwali Olympics wa 2012 ne All Africa Games wa 2009. Gimugu yalya obwapulezidenti bwa UBF mu 2013 oluvannyuma lw'okumegga Issa Kikungwe bwe babbinkana. Ekisanja kya Gimugu eky’emyaka ena kiggwaako mu 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unebplejanet 220x290

Ebyavudde mu PLE bifuluma leero...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni afunye akamwenyumweyu UNEB bw’emwanjulidde ebyavudde...

Tata 220x290

Gavt. ekkirizza ensobi ezaakolebwa...

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, William Byaruhanga akkirizza nti, okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kyakolebwa...

Pata 220x290

Alina ekiraamo kya Hajji Mukasa...

EKIRAAMO ky’eyabadde omusika w’eyali Mufti Ahamad Mukasa kikyabuze era famire ekola butaweera okukizuula.

Wana 220x290

Dr. Abed Bwanika ne Mabikke beegase...

ABA DP bakoze omukago n’ekibiina kya Dr. Abed Bwanika ekya PDP n’ekya Micheal Mabikke ekya SDP bakolere wamu ebyobufuzi...

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...