TOP

Emisinde gya Kabaka gyavuddemu obukadde 316

By Hussein Bukenya

Added 16th May 2016

Mu 2014, emisinde gino lwe gyatandika obukadde 169 ze zaavaamu era obukadde 50 ku zo ne zitwalibwa e Kitovu. Omwaka oguwedde, obukadde 212.

Birthdayrun 703x422

Kabushenga (wakati) ng’akwasa Kabaka omujoozi. Owookubiri ku ddyo ye Katikkiro Peter Mayiga. Asembye ku kkono ye minisita avunaanyibwa ku ntambula za Kabaka, Mariam Mayanja ng’addiriddwa minisita w’ebyemizannyo e Mengo, Henry Ssekabembe.

Bya HUSSEIN BUKENYA

EMISINDE gy’amazaalibwa ga Kabaka buli lukya gyeyongera okukula. Akakiiko akategesi akakulirwa Robert Kabushenga akulira Vision Group efulumya ne Bukedde, kaafulumizza lipooti eraga nti ez’omulundi guno zaavuddemu obukadde 316.

Okufaananako n’emyaka ebiri egiyise, ssente zino zigenda kutwalibwa mu ddwaaliro e Kitovu ziyambe abakyala abalina ekirwadde ky’okutonnya.

Mu 2014, emisinde gino lwe gyatandika obukadde 169 ze zaavaamu era obukadde 50 ku zo ne zitwalibwa e Kitovu. Omwaka oguwedde, obukadde 212.

Ssente ezaavudde mu misinde gino, ziraga nti buli mwaka emisinde gino gyeyongera ettutumu ekiwa essuubi nti omulanga gwa Ssaabasajja okuyamba abakyala abalwadde b’okutonnya abantu bagujjubira.

Emisinde gino gyaliwo nga April 10 nga gye gyakulembera ebikujjuko by’amazaalibwa ga Kabaka agaakuzibwa nga April 13. Waaliwo n’emizannyo emirala okuli obugaali, Golf, okuwuga, Squash gyayongerwamu.

Kabushenga ssentebe w’akakiiko kano, yategeezezza nti, “Emisinde gino gya myaka esatu kyokka gitaddewo ekyafaayo olw’abantu okugijjumbira buli mwaka.

Bwe tugendera awo, abakyala abalina ekirwadde kino bajja kukendeera nnyo,” Kabushenga bw’agamba. “Emikutu gy’amawulire gyonna gyakola omulimu gwa ttendo okukunga abantu era kye kyatuyamba okufuna abangi bwe batyo kuba batulinamu obwesige,” Kabushenga bw’ayongerako.

Emisinde gino giwagiddwa kkampuni okuli; Airtel, Post Banka, MAAD Advertisement, Rwenzori ne Vision Group.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...