OMUTINDO gw’ekibogwe SC Villa gw'eyolesezza mu mipiira ena egisembye guviiriddeko pulezidenti waayo, Ying. Ben Misagga okuyimiriza kapiteeni, Jonathan Mugabi ‘Dante’ n’abazannyi abalala bana basooke babuulirizibweko.
Dante, Abdukarim Kasule, Karim Ndugwa, Miisi Katende n’omukwasi wa ggoolo Nicholas Sebwato bayimiriziddwa obutaddamu kuzannya wadde okutendekebwa okutuusa ng'akakiiko akagenda okubuuliriza ku nzannya yaabwe kamalirizza omulimu gwako.
Misagga yategeezezza nti okuva ku mupiira Saints gwe yabawangula (2-0) okutuusa ku gwe baalemaganidde ne Soana (3-3), Dante ne banne baabadde bazannya ng’abatalina kigendererwa, sso nga bakimayi nti gye gyali gizza ttiimu ku kikopo.
“Ngoberedde abazannyi abo okuva ku mupiira gwa Saints ne nkizuula nga waliwo ekizibu kye tulina okunogera edaggala," Misagga bwe yategeezezza.
Omutendesi wa Villa, Ibrahim Kirya yakakasizza nti yafunye ekiragiro obutaddamu kubazannyisa. Sizoni ewedde Misagga yagoba abazannyi 12 ng'abalanga butaba na mpisa wamu n'okubeera n'omutindo omubi.