TOP

bagaanyi okudda mu kisaawe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

bagaanyi okudda mu kisaawe

Mba1 703x422

BANNAYUGANDA basatu abazannya ogw’ensimbi mu Simba eya Tanzania boolekedde okufuumuulwa mu ttiimu eyo lwa kwediima. Hamis ‘Diego’ Kiiza, Murushid Juuko ne Brian Majwega be boolekedde okukwatibwa ku nkoona n’abazannyi abalala basatu lwa kwediima okuzannyira ttiimu eno nga bagamba nti tebasobola kuzannya mupiira gwonna nga tebasasuddwa musaala gwabwe ogw’omwezi oguwedde.

Ku Lwokusatu, Simba bwe yabadde eremagana ne MAJI MAJI 0-0, abazannyi bano tebaalabiseeko sso nga ne ku Ssande baakoze ekintu kye kimu nga Simba ewangula Mutibwa Sugar ggoolo 1-0 mu liigi.

Kino kyawalirizza bakama baabwe okulagira omutendesi Jackson Mayanja naye Munnayuganda okubayimiriza nga bagamba nti tebayinza kugumiikiriza bazannyi batalina mpisa. Majwega ne Kiiza, Simba bagyegasseeko sizoni eno sso ng’eno sizoni ya Juuko ya yaakubiri.

Simba yaakusatu mu liigi nga mu mupiira 29 erina obubonero 62Kigambibwa nti endagaano za Bannayuganda bano zandisazibwamu olw’okwediima ng’abakungu ba Simba bagamba nti, “Ttiimu yaffe nnene okuzannyiramu abazannyi abagezaako okwonoona erinnya lyayo.” Guno si gwe mulundi ogusoose okweyisa mu ngeri enyomoola amateeka ga ttiimu eno.

Bukedde bwe yabuuzizza omutendesi Mayanja yategeezezza nti kituufu abazannyi bano baagaanyi okuzannya era tebali mu nkambi kyokka ekisinga okumuluma kwe kuba nga baakikoze nga tebambuulide ng’omutendesi waabwe ate Munnayuganda munnaabwe.

Yayongeddeko nti nga baakamala okuwangulwa, Mwadui yasoma olukalala lw’abazannyi abagenda okuzannya emipiira ebiri ogwa Maji Maji ne Mtibwa kyokka yatuuka mu nkambi nga Majwega ne banne tebaliimu.

“Ekisinga okunnuma kwe kuba nti abazannyi bano bwe baamala okuzannyira Cranes ng’ettunka ne Burkina Faso bagaanira e Kampala bakama bange ne banteeka ku nninga nga balowooza nti mbimanyiiko kyokka be bamu abeediimye. Bulijjo batusasulira mu budde kyokka ku mulundi guno bayisizzaamu ennaku ssatu zokka ssente ne bazituwa,” Mayanja bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...