ENTEEKATEEKA z’empaka z’amaato ga Kabaka ez’Amasaza zigenda bukwakku era ssentebe w’akakiiko akaziddukanya, Ying. Ben Misagga akakasizza nti Olwokutaano (May 20) we lunaatuukira nga ziwedde.
Ku Lwomukaaga, ttipa zaatandise okuyiwa amayinja okusindiikiriza amazzi mu bifo eby’entobazzi ku lubalama lw’ennyanja okusobozesa Kabaka okunyumirwa amaato era nga y’asuubirwa okusooka okukuba enkasi okuggulawo empaka zino ezimaze emyaka musanvu nga tezitegekebwa.
Ying. Misagga ategeezezza nti alina akakiiko akamanyi kye kakola nga buli muntu aweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okutuukiriza.
Akulira Bulungibwansi, Deo Luyimbazi eyaliko maneja wa SC Villa agambye nti baatandikidde ku kuzimba lutindo (Jalaja) oluzimbiddwa ab’Emmamba nga Kabaka kw’anaayita okwesogga ennyanja n’okusimbula amaato gano mu butongole ku Lwomukaaga nga May 21.
Solomon Muwonge, akulira ebyekikugu agambye nti amasaza gonna 18 gaamaze okukakasa okwetaba mu mpaka zino nga batandise n’okubangulirwa. “Tulina amaato ag’enkasi aga bulijjo, aga yingini wamu n’agenkasi Amazungu agavuganyizibwamu mu mizannyo gya Olympics”, Muwonge, era nga ye nnannyini Garuga Sailing Club e Ntebe bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti leero Abazungu lwe basuubirwa okujja okubangula abavuzi wamu n’owabula ku ntegeka y’empaka. Bava okuva e Bungereza, Botson ne New YorkEmpaka zaakwetooloola ekizinga Bulingugwe nga basuubira nti okukyetoloola ziri kitomita nnya era okusinziira ku Haji Abass Ssebandeke omu ku baakakiiko, omuvuzi adduka ennyo kimutwalira eddakiika 45 okukikola.
Buli ssaza lyakuleeta abavuzi 10 batandike envuga ez’okusunsulamu ku Lwokutaano era zino zaakulabirwa bwereere. Ku Lwomukaaga envuga za fayinolo lwe zitegekeddwa ng’abalabi baakusasula 10,000/- okuyingira ku mwalo e Munyonyo (Mulungu) okusanyuka ne Kabaka. Misagga yategeezezza nti omuntu anaasooka okutuuka we yasimbulidde ne yeeyala mu maaso ga Kabaka y’agenda okubalibwa ng’omuwanguzi.
Yayongeddeko nti eryato lya yingini ligenda kuvugibwa omuntu omu ery’enkasi 10 sso nga ery’empewo ligenda kubaako abantu musanvu. Kyaddondo be balina ekikopo kye baawangula mu 2009 empaka lwe zaasemba okutegekebwa.