TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Golola atandikidde Mityana okutumbula omuzannyo gw'ebikonde n'ensabaggere

Golola atandikidde Mityana okutumbula omuzannyo gw'ebikonde n'ensabaggere

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

Golola atandikidde Mityana okutumbula omuzannyo gw'ebikonde n'ensabaggere

Go1 703x422

Golola ng'ali n'abaana baatandise nabo okutendekebwa mu nsabaggere n'ebikonde

Moses Golola eyayatiikirira ennyo mu kutumbula n’okuzannya ensambaggere mu ggwanga atandise kaweefube w’okutumbula ebitone mu bavubuka ng’atandikidde Mityana mu pulogulaamu gy’atuumye Golola Talent Academy.

Golola agambye nti alina kati abavubuka abasoba mu 20 okuva mu bitundu ebyo n’ategeeza nti bangi abali mu byalo abatalina busobozi bujja mu bubuga wadde mu masomero g’ebibuga okusobola okulabibwa ky’avudde atandikawo kampeyini ya Golola Talent Academy nga yaakutumbula emizannyo naddala egizannyibwa mu Olympics.

“Wadde mmanyiddwa mu nsambaggere, njagala mu byalo  kutandikira ku bikonde kubanga nange mwe nnava okugenda mu nsambaggere.

Buli muzannyo kumpi gwetaaga ebikonde okugeza ensambaggere, Judo, Karate, Tae Kwondo nga kwe kuneetagga ebigwo nga n’abaddusi analina talanta sijja kubasuulirira,” bw’ategeezezza enkya ya leero mu kibuga Mityana ku ssaza w’akubye enkambi.

Ategeezezza era nti buli w’anagenda okubangawo enkola eno waakussaawo jiimu olwo asigale kulambula n’okulaba nti ttiimu ezibaana zitandise mu buli kitundu zeetaba mu mpaka z’eggwanga nga zifuna abaziteekamu ensimbi n’abatendesi.

Agambye era nti kampeyini ye Mityana yaakutongozebwa nga May 29 mu bikonde by’agenda okuzannya ne Munnakenya Waina Yina ku Ggombolola e Mityana era ng’abazannyi bangi b’atendese ku kampeyini eno baakwetaba mu binajja abalabi ekifu ku maaso.

E Mityana yeegattiddwako musajjamukulu Costa Mweba eyakukuga ku nsambaggere, Judo n’ebigwo ng’ono ategeezezza nti Golola okutandikawo kampeyini eno kirabo eri eggwanga kubanga ebitone bingi ebifiira mu byalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...