TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kabaka e Munyonyo: Amasaza geeswanta kuwangula mpaka z’amaato

Kabaka e Munyonyo: Amasaza geeswanta kuwangula mpaka z’amaato

By Hussein Bukenya

Added 21st May 2016

ABANTU ba Ssaabasajja Kabaka mu bitundu ebiriraanye Munyonyo mu ggombolola y’e Makindye mu ssaza ly’e Kyaddondo, baasuze babinuka masejjere nga n’ebivuga bisindogoma nga balinda Omutanda eyasiimye okuggalawo empaka z’amaato eziwakanirwa amasaza ga Buganda ku mwalo e Mulungu leero (Lwamukaaga).

Munyonyo 703x422

Kabaka (wakati) ng’avuga eryato bwe yali aggulawo empaka z’amaato e Munyonyo mu 2006.

Lwamukaaga e Munyonyo:

Amaato g’Amasaza:

Ebisale: 10,000/-

ABANTU ba Ssaabasajja Kabaka mu bitundu ebiriraanye Munyonyo mu ggombolola y’e Makindye mu ssaza ly’e Kyaddondo, baasuze babinuka masejjere nga n’ebivuga bisindogoma nga balinda Omutanda eyasiimye okuggalawo empaka z’amaato eziwakanirwa amasaza ga Buganda ku mwalo e Mulungu leero (Lwamukaaga).

Kabaka Mutebi asuubirwa okutuuka e Mulungu ku ssaawa 8:00 ez’emisana sso ng’empaka zaakutandika ku makya ssaawa 2:00.

Amaato gano gagenda kuvugibwa ku musingi gw’amasaza nga buli ttiimu yaakuleeta abavuzi 10 bavuganyize ku mitendera esatu okuli ogwa mita 100, 300 n’okwetooloola omwalo nga bakozesa amaato g’enkasi, yingini n’ag’empewo (sailing boats).

Amasaza gonna geewandiisizza okwetaba mu mpaka zino era buli ssaza liwera kuvaayo na buwanguzi mu mpaka ezaakoma kubeerawo mu 2006 ne ziwangulwa Kyaddondo.

Ssentebe w’akakiiko akategesi, Ying. Ben Misagga yategeezezza nti enteekateeka zonna okuli; okuyooyoota ekifo kino, ebyokwerinda n’abakugu abagenda okutambulira ku maato amalawunyi okuyamba abafunye obuzibu nga bavuga byonna byateredde dda.

Omuntu anaasooka okutuuka we yasimbulidde n’adduka ne yeeyala mu maaso ga Kabaka y’agenda okubalibwa ng’omuwanguzi era anaawangula buli mutendera waakufuna sseddume w’ente n’ekikopo.

Yayongeddeko nti eryato lya yingini ligenda kuvugibwa omuntu omu ate ery’enkasi lyakuvugibwa abantu 10 (bataano buli ludda) sso nga ery’empewo ligenda kubaako abantu musanvu.

“Enteekateeka zonna okuli okuyooyoota ekifo, ebiyitirirwa byawedde dda nga kati abantu ba Kabaka be basigadde okweyiwa mu bungi e Mulungu okumwaniriza,” Misagga bwe yategeezezza n’agattako nti waliwo n’abayimbi abagenda okusanyusa abagenyi ng’okuyingira kwa 10,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu