TOP

Emizannyo gimpeeredde ne nfuna diguli 2

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2016

NATANDIKA okuzannya woodball nga mmunyooma naye laba bwe gunfudde ssereebu ku lukalu lw'Afrika.

Bweru1 703x422

Zawedde lwe yasisinkana Pulezidenti.

NATANDIKA okuzannya woodball nga mmunyooma naye laba bwe gunfudde ssereebu ku lukalu lw'Afrika.

Kye nsinga okugumanyaako kiri nti, bw'oba n'obusungu obw'ettumbiizi, togusobola." Lillian Zawedde, nnamba emu mu kuzannya woodball mu Afrika ate nga mu nsi yonna akwata kyamusanvu bwe yatandise emboozi ye ng'aginyumiza LYDIA MBASEGE ku bulamu bwe n'obwa woodball;

NAYINGIRA Ndejje University mu 2008 nga nneesasulira fi izi wabula nga nzannya basketball. Kyokka mu 2009, kitange Gastus Mayambala yafa fi izi ne zimbula kyokka nga ku yunivasite eno, waliwo abaana abalina bbaasale z'ebyemizannyo.

Paul Mark Kayongo, akulira ebyemizannyo mu Ndejje University yantegeeza nti nsobola okufuna bbaasale ssinga nneenyigira mu byemizannyo.

Yampa amagezi okukwata ekkubo ly'okuzannya woodball kuba yali yaakatandika ku yunivasite eno. Natandika okutendekebwa woodball nga mu butuufu simwagala naye ate nga njagala fi izi. Nga mmaze okumuyiga, ate nanyumirwa era gunfudde sereebu.

Nanyoonyezebwako Pulezidenti Museveni era ne mmukwatako mu ngalo lwa kutunda Uganda mu nsi yonna mu mpaka z'ensi yonna eza woodball ezaali e China mu 2014.

Namanya akakodyo akagufuga nti tegubaamu busungu ate teguzannyibwa alina situleesi kuba ebirowoozo byo byonna olina kubissa ku kapiira k'okuba.

Natandika okwetaba mu mpaka ez'enjawulo mu 2010 era tewali muzannyi ankubye ku lukalu lw'Afrika.

Ennyonyi nagifuula takisi kuba ng'enda mu nsi ez'enjawulo okwetaba mu mpaka eziriyo era gye nkoma okwetaba mu mpaka ennyingi n'okuwangula gy'enkoma okulinnya ebifo mu nsengeka z’Afrika n'ensi yonna.

NSOMEDDE KU MIZANNYO

Nsomye okuva mu 2009 okutuusa omwaka guno amasoma ag'enjawulo okuli diguli mu bya mawulire nga kati nsoma diguli yaakubiri mu byakitunzi ku Ndejje Univesity nga byonna nsomera bwereere.

 awedde ngazannya woodball Zawedde ng'azannya woodball.

 

Nasomerako obwereere ku Nile P/S, Walukuba East, Iganga P/S, Jinja SS ne Crane High Kitintale nga nzannya emizannyo.

Kati ku kuzannya woodball ng’attako okusomesa e Ndejje. Mpagudde engule nnyingi mu Uganda mu bibiina eby'enjawulo okuli ekya Bannamawulire ekya USPA ne Uganda Woodball Federation.

Siryerabira lunaku lwe nakubwa mu woodball ne nva mu kifo eky'e 17 kye nasooka okukwata mu nsi yonna mu 2013 ne nzira mu 24 mu 2014.

Nayisibwa bubi kuba nasooka kubonaabona nga nnoonya tikiti eyantwala e China empaka gye zaali.

Omwaka guno njagala kubeera ku bawanguzi abasatu mu World Cup etandika ku Lwokuna e China.

Obukadde 56 bwe nneetaaga okufuuka nantameggwa w'ensi yonna mu 2016 era nsaba abazirakisa, bamusigansimbi ne Gavumenti okunnyamba okufuna ensimbi ezintwala.

Bwe mba siri mu kuzannya woodball nnyumirwa okukyaza abagenyi nga basajja ne tunyumyamu kuba balina ebizimba okusinga abakazi era tebalina lugambo.

Ndi muzadde wa mwana omu naye siri mufumbo wabula Katonda bw'ampa omusajja ategeera ku ssaawa eno, nfumbirwa kuba emyaka gyange gyegyo (28).

Omugenzi Abel Dhaira ye muzannyi yekka eyanjagaza akapiira n'andeetera n'okukazannya nga nkyasoma ku Jinja SS nga tusoma S.2. Siyinza kumwerabira. Rachael Nanyonga naye ankolera kuba mumpi naye alina talanta mu kubaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...