TOP

Ensonga z’omupiira FUFA ekomye okuziteeseza ku Facebook

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2016

EYAWABULA FUFA nti omupiira bajja kusobola okuguzimbira ku Face book n’emikutu gya Social Media emirala, yabageta ng’enjogera y’ekivubuka!

Aaaaaabig70342212 703x422

EYAWABULA FUFA nti omupiira bajja kusobola okuguzimbira ku Face book n’emikutu gya Social Media emirala, yabageta ng’enjogera y’ekivubuka!

Mu kifo ky’okwemalira ku kulambika ensonga ezizimba omupiira, bali mu kukuutira kadingidi ebiruubirirwa by’omuntu omu eyeegwanyiza okwekuumira mu bukulembeze.

FUFA egufudde mugano buli kusomoozebwa okweyolese omupiira, okukwolekeza mikutu gya ‘Social Media’ abantu gye baweera endowooza eziteesigamiddwa ku kumanya, bumanyirivu wadde ebigenda mu maaso kyokka ensonga okuzizingazinga zituukane n’ebigendererwa byayo (FUFA).

Tebalina gwe bawa kitiibwa okuggyako okuvuma, okuvvoola n’okunafuya buli gwe batakwatagana naye mu ndowooza awatali kutaliza k’abe minisita, abaaliko abakulembeze b’omupiira abagundiivu, abaaguzannyako, baddiifi ri n’abalala.

FUFA tekyalabawo bannakazadde ba mupiira okuggyako ab’essa wansi ne bakkiriza okutambulira mu nkwawa za Moses Magogo agikulira. Naye tekijja kuyamba mupiira kugenda mu maaso okuggyako okugunnyika.

Ensangi zino, FUFA eri mu kwereega bikya n’ebitongole bya gavumenti (NCS ne minisitule y’Ebyenjigiriza n’Emizannyo) ku tteeka ly’okwewandiisa.

Wadde FUFA erina okwekengera ku nteekateeka eno, naye tebalina kye bagenda kuganyulwa mu kulwanira ku Face book okuggyako nga bagoberedde obuyinza.

NCS ng’ekitongole kya gavumenti ekikulembera ebibiina by’emizannyo, y’ewa FUFA, olukusa okukulembera ebibiina by’omupiira mu ggwanga wamu n’okwewandiisa n’okukolagana ne CAF ne FIFA. Awatali lukusa lwa NCS, FUFA eba kubyayo.

Olwo amampaati gaaki? Nze kye ndowooza ku lw’obulungi bw’omupiira, FUFA eteekeddwa okugondera ekiragiro kya NCS n’oluvannyuma balambike eri abakwatibwako, ensonga ze bazudde nga zisobola okugootaanya enzirukanya y’omupiira okusinziira ku nkola ya CAF ne FIFA.

Bwe kiba kyetaagisa, FUFA esobola n’okukwanaganya NCS ne FIFA ne CAF, butya FUFA bw’eteekeddwa okuyambibwa.

FUFA okwebalama okwewandiisa, yeewala kuwa NCS mbalirira kuba enkola ebaddewo nga FUFA evunaanyizibwa embalirira kugiwa eri ttabamiruka waayo omuli abakungu abatafaayo ku biyisiddwa.

Omupiira bwe guba gwagala Gavumenti egusakirire, lwaki ogikugira ku kulondoola ssente z’etaddemu? mubiruabd@gmail.com (0704554636)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi